Olubereberye 14
14
Olutalo ne Bakabaka
1 Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali,#14:1 Sinaali ye Babulooni ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, 2 bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali. 3 Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo). 4Baamala emyaka kkumi n’ebiri nga baweereza Kedolawomeeri kabaka we Eramu, naye mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ne bamujeemera.
5 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa#14:5 Abaleefa kitegeeza Agantu aganene ennyo. mu Asuterosikalumayimu ne babawangula, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abemi mu Savekiriyasayimu, 6 n’Abakooli mu nsi ey’ensozi eya Seyiri n’okutuukira ddala Erupalaani okumpi n’eddungu. 7 Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna ey’Abamaleki n’Abamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.
8 Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu 9okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. 10 Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi. 11Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda. 12Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu.
Ibulaamu Awonya Lutti
13 Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu. 14 Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. 15Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. 16Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.
Merukizeddeeki Asabira Ibulaamu Omukisa
17 Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). 18 Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi#14:18 Ssaalemi lye liyinzika okuba nga ly’erinnya ekkadde erya Yerusaalemi. eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. 19 N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti,
“Katonda Ali Waggulu Ennyo
Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
20 Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe
agabudde abalabe bo mu mikono gyo.”
Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.
21Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”
22 Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, 23 sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ 24Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.”
Currently Selected:
Olubereberye 14: EEEE
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.