Awo Mukama n'anziramu nti:
“Bye nkulaga biwandiike
obyole bulungi ku bipande,
bibe byangu okusoma.
Bikuume mu buwandiike,
kubanga bikyalinda
ekiseera kyabyo kituuke.
Naye ekiseera tekirirwa,
bye nkulaga bituukirire.
Ne bwe kirabika nti kirwawo
kirindirire, tekirirema kujja,
era kiryanguwako.