1
Luk 21:36
BIBULIYA ENTUKUVU
Awo nno mutunule ebbanga lyonna, nga mwegayirira, musobole okuwona ebyo byonna ebigenda okujja, musobole n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
Cymharu
Archwiliwch Luk 21:36
2
Luk 21:34
“Kale mwekuume, sikulwa ng'emitima gyammwe giggweera mu kunywa ne mu butamiivu n'okweraliikirira okw'obulamu buno, olunaku luli ne lubagwako bugwi ng'omutego
Archwiliwch Luk 21:34
3
Luk 21:19
Mu kugumiikiriza kwammwe mwe mulituukira ku bulamu bwammwe.
Archwiliwch Luk 21:19
4
Luk 21:15
Kubanga nze ndibawa ebigambo n'amagezi abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kwaŋŋanga na kuwakanya.
Archwiliwch Luk 21:15
5
Luk 21:33
Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Archwiliwch Luk 21:33
6
Luk 21:25-27
“Walirabika obubonero mu njuba ne mu mwezi ne mu mmunyeenye; ate mu nsi amawanga galyeraliikirira olw'okuwuluguma kw'ennyanja n'amayengo; abantu balizirika olw'okutya n'okulindirira ebigenda okujjira ensi yonna; kubanga amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa. Awo baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.
Archwiliwch Luk 21:25-27
7
Luk 21:17
Mulikyayibwa bonna olw'okubeera erinnya lyange.
Archwiliwch Luk 21:17
8
Luk 21:11
Walibaawo musisi ow'amaanyi ne mu bifo ebimu walibaayo enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene okuva mu ggulu
Archwiliwch Luk 21:11
9
Luk 21:9-10
Bwe muliwulira entalo n'obutabanguko, muleme kutengera; ebyo tebirirema kusooka kubaawo, naye yo enkomerero teriba ya mangu ago.” Awo n'abagamba nti: “Eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo.
Archwiliwch Luk 21:9-10
10
Luk 21:25-26
“Walirabika obubonero mu njuba ne mu mwezi ne mu mmunyeenye; ate mu nsi amawanga galyeraliikirira olw'okuwuluguma kw'ennyanja n'amayengo; abantu balizirika olw'okutya n'okulindirira ebigenda okujjira ensi yonna; kubanga amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa.
Archwiliwch Luk 21:25-26
11
Luk 21:10
Awo n'abagamba nti: “Eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo.
Archwiliwch Luk 21:10
12
Luk 21:8
N'abagamba nti “Mwekkaanye, temuwubisibwanga; kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze wuuyo!’ oba nti: ‘Obudde butuuse!’ Temugezanga nno kubagoberera.
Archwiliwch Luk 21:8
Gartref
Beibl
Cynlluniau
Fideos