YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 3

3
Omulanzi alabikirwa Yoswa Ssaabakabona
1Awo Mukama n'andaga Yoswa Ssaabakabona, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama. Ku ludda lwa Yoswa olwa ddyo waali wayimiriddewo Sitaani, nga yeetegese okulumiriza Yoswa.#Laba ne Ezer 5:2; Kub 12:10 2Malayika wa Mukama n'agamba Sitaani nti: “Mukama akunenye, ggwe Sitaani! Ddala, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemu akunenye! Omuntu ono ali ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro.”#Laba ne Yuda 9
3Yoswa yali ayambadde ebyambalo ebijama, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika. 4Malayika n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge nti: “Mumwambulemu ebyambalo ebijama.” Awo n'agamba Yoswa nti: “Nkuggyeeko ekibi kyo, era nja kukwambaza ebyambalo ebyekitiibwa.”
5N'alagira nti: “Mumutikkire ku mutwe ekiremba ekitukula.” Awo ne bamutikkira ku mutwe ekiremba ekitukula, era ne bamwambaza ebyambalo nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.
6Awo malayika wa Mukama n'akuutira nnyo Yoswa nti: 7“Bw'onookwatanga amateeka gange, era n'otuukirizanga bye nkulagira okukola, olwo ojja kwongera okulabiriranga Essinzizo lyange n'empya zaalyo, era nnaakukkirizanga okusembera we ndi mu ngeri ye emu nga bano abayimiridde wano. 8Kale ggwe Yoswa Ssaabakabona, wulira. Era nammwe bakabona banne muwulire: mmwe kabonero ak'ebiseera eby'omu maaso ebirungi. Ndireeta omuweereza wange ayitibwa Ttabi.#Laba ne Yer 23:5; 33:15; Zek 6:12 9Laba nteeka mu maaso ga Yoswa ejjinja limu nga lya njuyi musanvu. Ku lyo nja kwolako ekiwandiiko, era ndiggyawo ekibi ky'ensi eno mu lunaku lumu. 10Okuva ku lunaku olwo, buli omu mu mmwe anaayitanga munne okujja basanyukireko wamu, nga bali wansi w'omuzabbibu oba wansi w'omutiini.”#Laba ne Mi 4:4

Currently Selected:

ZEKARIYA 3: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in