YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 9

9
Yesu awonya omulwadde w'olukonvuba
(Laba ne Mak 2:1-12; Luk 5:17-26)
1Awo Yesu n'asaabala mu lyato, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe. 2Ne bamuleetera omuntu akonvubye. Baamuleeta agalamidde ku katanda. Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo mbikusonyiye.”
3Awo abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne bagambagana nti: “Ono avvoola Katonda.”
4Yesu bwe yalaba ebirowoozo byabwe, n'agamba nti: “Lwaki mulowooza obubi mu mitima gyammwe? 5Ekisingako obwangu kye kiruwa, okugamba nti: ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira otambule?’ 6Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.” 7N'ayimirira, n'addayo ewaabwe. 8Abantu bwe baalaba ekyo, ne batya, ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkana awo.
Yesu ayita Matayo
(Laba ne Mak 2:13-17; Luk 5:27-32)
9Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaba omuntu ayitibwa Matayo, ng'atudde we basolooleza omusolo. N'amugamba nti: “Yitanga nange.” Matayo n'asituka, n'amugoberera.
10Awo olwatuuka, Yesu bwe yali mu nnyumba ng'atudde okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi ne bajja, ne batuula ne Yesu era n'abayigirizwa be okulya.#Laba ne Luk 15:1-2 11Abafarisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki Omuyigiriza wammwe aliira wamu n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
12Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. 13Naye mugende mwetegereze amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala sso si kitambiro.’ Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”#Laba ne Mat 12:7; Hos 6:6
Okusiiba
(Laba ne Mak 2:18-22; Luk 5:33-39)
14Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bajja eri Yesu, ne babuuza nti: “Lwaki ffe, n'Abafarisaayo tusiiba emirundi mingi, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?”
15Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza kunakuwala ng'awasizza omugole akyali nabo. Naye ekiseera kijja, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo nno balisiiba.
16“Omuntu tatunga mu lugoye lukadde kiwero kiggya ekitannayozebwamu, kubanga kiyuza olugoye, ekituli ne kyeyongera obunene. 17Era omwenge ogw'emizabbibu omusu, tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya, byombi lwe bikuumibwa obulungi.”
Muwala wa Yayiro n'omukazi eyakwata ku kyambalo kya Yesu
(Laba ne Mak 5:21-43; Luk 8:40-56)
18Yesu yali akyabagamba ebyo, omukungu omu n'ajja n'amufukaamirira, n'agamba nti: “Muwala wange yaakafa, naye jjangu omukwateko, anaalamuka.” 19Awo Yesu n'asituka, n'agenda naye, wamu n'abayigirizwa be.
20Omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky'omusaayi okumala emyaka kkumi n'ebiri, n'ajja emabega wa Yesu, n'amukwata ku lukugiro lw'ekyambalo kye: 21kubanga yagamba mu mutima gwe nti: “Waakiri ne bwe nnaakwata ku kyambalo kye, nja kuwona.”
22Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti: “Omuwala, guma, owonye olw'okukkiriza kwo.” Omukazi n'awona mu kaseera ako.
23Yesu bwe yatuuka ku nnyumba y'omukungu, n'alaba abafuuwa endere n'abantu bangi nga baaziirana, 24n'agamba nti: “Muveewo. Omuwala tafudde, wabula yeebase.” Ne bamusekerera. 25Abantu bwe baamala okugobebwawo, Yesu n'ayingira, n'akwata omuwala ku mukono, omuwala n'ayimirira. 26Amawulire ago ne gabuna mu nsi eyo yonna.
Yesu awonya bamuzibe babiri
27Yesu bwe yava eyo, bamuzibe babiri ne bamugoberera nga baleekaana, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, tusaasire!”
28Yesu bwe yatuuka mu nnyumba, bamuzibe abo ne bajja w'ali, n'ababuuza nti: “Mukkiriza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti: “Weewaawo, Ssebo!” 29Awo n'akwata ku maaso gaabwe, n'agamba nti: “Kibakolerwe nga bwe mukkirizza.” 30Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti: “Temubuulirako muntu n'omu!” 31Naye bo ne bafuluma, ne basaasaanya mu nsi eyo yonna amawulire agafa ku Yesu.
Yesu awonya kasiru
32Abo bwe baali bafuluma, ne wabaawo abaamuleetera kasiru, ng'aliko omwoyo omubi. 33Yesu bwe yamugobaako omwoyo omubi, kasiru n'ayogera. Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ekiri nga kino tekirabikangako mu Yisirayeli!” 34Naye Abafarisaayo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa mukulu waagyo.”#Laba ne Mat 10:25; 12:24; Mak 3:22; Luk 11:15
Yesu akwatirwa abantu ekisa
35Yesu n'ayitaayita mu bibuga byonna ne mu byalo, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka, era ng'awonya abantu obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna.#Laba ne Mat 4:23; Mak 1:39; Luk 4:44 36Bwe yalaba abantu enkumu, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali basobeddwa, nga bali ng'endiga ezitalina musumba.#Laba ne Kubal 27:17; 1 Bassek 22:17; 2 Byom 18:16; Ezek 34:5; Mak 6:34 37N'alyoka agamba abayigirizwa be nti: “Eby'okukungula bingi, naye abakozi be batono.#Laba ne Luk 10:2 38Kale musabe nnannyini bya kukungula asindike abakozi mu by'okukungula bye.”

Currently Selected:

MATAYO 9: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in