YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 21

21
Yesu ayingira n'ekitiibwa mu Yerusaalemu
(Laba ne Mak 11:1-11; Luk 19:28-40; Yow 12:12-19)
1Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali basemberedde ekibuga Yerusaalemu, nga batuuse e Betufaage, okumpi n'Olusozi olw'emiti Emizayiti, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri, 2n'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangwago, mujja kulaba endogoyi esibiddwa nga eri n'omwana gwayo. Muzisumulule, muzindeetere. 3Singa wabaawo abavunaana, mugamba nti: ‘Mukama waffe azeetaaga’, olwo ye ajja kuziweereza mangu.”
4Kino kyabaawo okutuukiriza ekyo omulanzi kye yayogera nti:
5“Mubuulire abantu b'e Siyooni nti:
Laba, Kabaka wammwe ajja gye muli.
Muteefu, era yeebagadde endogoyi,
yeebagadde omwana gw'endogoyi.”#Laba ne Zek 9:9
6Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. 7Ne baleeta endogoyi n'omwana gwayo, ne bazissaako ekkooti zaabwe, ne bazeebagazaako Yesu. 8Abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne batema obutabi ku miti, ne babwaliira mu kkubo. 9Abantu abangi abaali bamukulembedde, era n'abo abaali bava emabega, ne baleekaana nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama aweereddwa omukisa! Mukama ali mu ggulu atenderezebwe!”#Laba ne Zab 118:25-26
10Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemu, ekibuga kyonna ne kiyuuguuma. Abakirimu ne babuuza nti: “Oyo ani?” 11Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Ono ye mulanzi, Yesu ow'e Nazaareeti eky'e Galilaaya.”
Yesu mu Ssinzizo
(Laba ne Mak 11:15-19; Luk 19:45-48; Yow 2:13-22)
12Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abo bonna abaali batundiramu, n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batundiramu enjiibwa. 13N'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.”#Laba ne Yis 56:7; Yer 7:11
14Awo bamuzibe n'abalema ne bajja awali Yesu mu Ssinzizo, n'abawonya. 15Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baalaba ebyamagero bye yakola, era ne balaba abaana nga baleekaana mu Ssinzizo, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi atenderezebwe,” ne banyiiga. 16Ne bagamba nti: “Owulira abo bye bagamba?”
Yesu n'abaddamu nti: “Weewaawo. Temusomangako ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Wagunjula abaana abawere n'abayonka okuwa ettendo ettuufu?’ ”#Laba ne Zab 8:3
17N'abaawukanako, n'afuluma ekibuga, n'alaga e Betaniya, n'asula eyo.
Omuti omutiini gukala
(Laba ne Mak 11:12-14,20-24)
18Enkeera ku makya, Yesu bwe yali addayo mu kibuga, n'alumwa enjala. 19N'alengera omuti gumu omutiini ku mabbali g'ekkubo. N'agutuukako, n'atagusangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Toddangayo okubala ebibala emirembe gyonna!” Amangwago omutiini ne gukala.
20Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne beewuunya! Ne bagamba nti: “Omutiini gukaze gutya amangu?”
21Yesu n'abaddamu nti: “Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza nga temubuusabuusa, munaayinzanga okukola kye nkoze ku mutiini ogwo. Era si ekyo kyokka, naye munaayinzanga n'okugamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja,’ ne kituukirira.#Laba ne Mat 17:20; 1 Kor 13:2 22Era singa muba n'okukkiriza, byonna bye munaasabanga Katonda nga mumusinza, munaabifunanga.”
Yesu bamubuuza ku buyinza bwe
(Laba ne Mak 11:27-33; Luk 20:1-8)
23Awo Yesu bwe yakomawo mu Ssinzizo, bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja w'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola bino? Era ani yakuwa obuyinza buno?”
24Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munaakinziramu, olwo nange nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola bino. 25Ani yatuma Yowanne okubatiza: Katonda, oba bantu?”
Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tuddamu nti: ‘Katonda ye yamutuma’, ajja kutubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne ono temwamukkiriza?’ 26Ate singa tuddamu nti: ‘Abantu be baamutuma,’ tutya abantu: kubanga bonna bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.” 27Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bino.
Olugero lw'abaana ababiri
28“Kale mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri, n'agenda eri omubereberye, n'amugamba nti: ‘Mwana wange, olwaleero genda okole mu nnimiro y'emizabbibu.’ 29Ye n'addamu nti: ‘Ŋŋaanye.’ Kyokka oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda n'akola. 30Kitaabwe era n'agenda eri owookubiri n'amulagira ekintu kye kimu. Ye n'addamu nti: ‘Ka ŋŋende, ssebo.’ Kyokka n'atagenda. 31Kale ani ku bombi eyakola ekyo kitaawe kye yayagala?” Ne baddamu nti: “Omubereberye.”
Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya babasooka mmwe okuyingira Obwakabaka bwa Katonda, 32kubanga Yowanne Omubatiza yajja gye muli, n'abalaga ekkubo ettuufu, ne mutamukkiriza. Naye abasolooza b'omusolo ne bamalaaya, bo baamukkiriza. Ekyo mwakiraba, naye n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.”#Laba ne Luk 3:12; 7:29-30
Olugero lw'abapangisa mu nnimiro y'emizabbibu
(Laba ne Mak 12:1-12; Luk 20:9-19)
33“Muwulire olugero olulala. Waaliwo omuntu ssemaka, eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala.#Laba ne Yis 5:1-2 34Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma abaddu be eri abapangisa, bamuwe ebibala ebibye. 35Kyokka abapangisa ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, n'omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36N'ayongera okutuma abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye. Era ne babakola ekintu kye kimu. 37Oluvannyuma n'abatumira omwana we ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamussaamu ekitiibwa.’ 38Naye abapangisa bwe baalaba omwana oyo, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika! Mujje tumutte, obusika buliba bwaffe.’ 39Ne bamukwata, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta.
40“Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, alikola atya abapangisa abo?” 41Ne bamuddamu nti: “Ababi abo alibazikiririza ddala, era ennimiro y'emizabbibu aligissaamu abapangisa abalala, abanaamuwanga ebibala mu kiseera ekituufu.”
42Yesu n'abagamba nti:
“Temusomangako ekyo
ebyawandiikibwa kye bigamba?
‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.
Ekyo Mukama ye yakikola,
ne tukiraba,
ne tukyewuunya.’#Laba ne Zab 118:22-23
43“N'olwekyo mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako mmwe, ne buweebwa abantu abalikola ebikolwa ebibusaanira. [ 44Buli agwa ku jinja eryo, alimenyekamenyaka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”]#21:44 Ebiwandiiko ebimu ebiy'edda tebirina lunyiriri luno. (Laba ne Luk 20:18).
45Bakabona abakulu n'Abafarisaayo bwe baawulira engero za Yesu, ne bategeera nti ayogedde ku bo. 46Ne bagezaako okumukwata, naye ne batya ekibiina ky'abantu, kubanga kyali kimanyi nti Yesu mulanzi.

Currently Selected:

MATAYO 21: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in