YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 13

13
Olugero lw'omusizi
(Laba ne Mak 4:1-9; Luk 8:4-8)
1Ku lunaku olwo Yesu bwe yava mu nnyumba, n'alaga ku lubalama lw'Ennyanja, n'atuula. 2Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali. Kyeyava asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo, ekibiina ky'abantu kyonna ne kiyimirira ku lubalama.#Laba ne Luk 5:1-3 3N'ayogera nabo bingi mu ngero, n'agamba nti:
“Omusizi yagenda okusiga ensigo. 4Bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya. 5Endala ne zigwa ku ttaka ery'oku lwazi, amangwago ne zimera, kubanga ettaka lyabuguumirira mangu olw'obutaba ggwanvu. Omusana bwe gwayaka ennyo, ne ziwotookerera; 6era olw'okuba ng'emirandira gyazo gyali tegisse nnyo wansi mu ttaka, ne zikala. 7Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaakula, ne gazitta. 8N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zimera, ne zikula, ne zibala ebirimba. Ebimu ne bibaamu ensigo kikumi; ebirala, ensigo nkaaga, n'ebirala, ensigo amakumi asatu. 9Alina amatu, awulire.”
Ekigendererwa mu ngero
(Laba ne Mak 4:10-12; Luk 8:9-10)
10Awo abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti: “Lwaki oyogera nabo mu ngero?” 11N'abaddamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa. 12Kubanga buli alina aliweebwa, n'aba na bingi nnyo. Ate buli atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.#Laba ne Mat 25:29; Mak 4:25; Luk 8:18; 19:26 13Kyenva njogera nabo mu ngero, kubanga batunula, naye tebalaba. Bawuliriza, naye tebawulira, era tebategeera. 14Era omulanzi Yisaaya kye yalanga, kituukirira ku bo, ekigamba nti:
‘Weewaawo muliwulira,
naye temulitegeera.
Weewaawo muliraba,
naye temulyetegereza.#Laba ne Yis 6:9-10
15Omutima gw'abantu bano gugubye,
n'amatu gaabwe gazibikidde,
n'amaaso gaabwe bagazibirizza.
Sikulwa nga balaba n'amaaso,
nga bategeera n'omutima,
era nga bakyuka ne mbawonya.’
16“Naye mmwe muli ba mukisa, kubanga amaaso gammwe galaba, n'amatu gammwe gawulira.#Laba ne Luk 10:23-24 17Mazima mbagamba nti abalanzi bangi n'abantu abalungi beegomba okulaba bye mulaba ne batabiraba, n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira.
Yesu annyonnyola amakulu g'olugero lw'omusizi
(Laba ne Mak 4:13-20; Luk 8:11-15)
18“Kale nno mmwe muwulire amakulu g'olugero lw'omusizi. 19Abo abawulira ekigambo ekifa ku Bwakabaka ne batakitegeera, ze nsigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Omubi ajja n'anyaga ekisigiddwa mu mitima gyabwe. 20Ensigo ezaagwa ku ttaka ery'oku lwazi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyaniriza n'essanyu. 21Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, balwawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka. 22Ensigo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi. 23Ate ezo ezaagwa mu ttaka eddungi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda ne bakitegeera, ne bakola ebikolwa ebirungi: mu bamu ne byeyongera emirundi kikumi, mu balala emirundi nkaaga, ate mu balala, emirundi amakumi asatu.”
Olugero lw'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano
24Yesu n'abaleetera olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. 25Kyokka abantu bwe baali nga beebase, omulabe we n'ajja, n'asiga mu ŋŋaano omuddo ogufaanana nga yo, n'agenda. 26Ebimera bwe byakula, ne bibala ebirimba, olwo omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano ne gulabika. 27Abaddu ba nnannyini nnimiro ne bajja ne bamugamba nti: ‘Ssebo, ensigo ennungi si gye wasiga mu nnimiro yo? Kale omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano gwava wa?’ 28N'abaddamu nti: ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu ne bamugamba nti: ‘Oyagala tugende tugukoolemu?’ 29N'agamba nti: ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukoolamu omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano, muyinza okukuuliramu n'eŋŋaano yennyini. 30Muleke byombi bikulire wamu okutuuka amakungula. Mu kiseera eky'amakungula, ndigamba abakunguzi nti: Musooke mukuŋŋaanye omuddo, mugusibe ebinywa gwokebwe, naye eŋŋaano mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ”
Olugero lw'akasigo ka kaladaali
(Laba ne Mak 4:30-32; Luk 13:18-19)
31Yesu n'abaleetera n'olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasiga mu nnimiro ye. 32Kano ke kasigo akasingira ddala obutono mu nsigo zonna. Naye bwe kamera ne kakula, kaba kanene okusinga ebimera eby'enva ebirala byonna. Ne kavaamu omuti, ebinyonyi ne bijja, ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.”
Olugero lw'ekizimbulukusa
(Laba ne Luk 3:20-21)
33Yesu n'abaleetera olugero olulala nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
Yesu kyeyava akozesa engero
(Laba ne Mak 4:33-34)
34Yesu ebyo byonna abantu yabibabuulira mu ngero. Teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero. 35Yakolanga ekyo okutuukiriza omulanzi kye yayogera, ekigamba nti:
“Ndyogera mu ngero;
ndyatula ebyakwekebwa
okuva ku kutondebwa kw'ensi.”#Laba ne Zab 78:2
Yesu annyonnyola olugero lw'omuddo
36Awo Yesu n'asiibula ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero lw'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano ogwali mu nnimiro.”
37Yesu n'addamu nti: “Asiga ensigo ennungi, ye Mwana w'Omuntu. 38Ennimiro, ye nsi. Ensigo ennungi, be bantu ab'omu Bwakabaka bwa Katonda. Omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano, be bantu ab'Omubi. 39Ate omulabe eyagusiga, ye Sitaani. Amakungula, ye nkomerero y'ensi. Abakunguzi, be bamalayika. 40Kale nno ng'omuddo ogufaanana ng'eŋŋaano bwe gukuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu nnimiro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. 41Omwana w'Omuntu alituma bamalayika be, ne baggya mu Bwakabaka bwe abo bonna abasuula abantu mu kibi, n'abamenyi b'amateeka, 42ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji. 43Olwo abantu abalungi balyakaayakana ng'enjuba mu Bwakabaka bwa Kitange. ‘Alina amatu, awulire.’
Olugero lw'ekyobugagga ekikweke
44“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, n'akikweka, era olw'essanyu erimukutte, n'agenda n'atunda ebibye byonna by'alina, n'agula ennimiro eyo.
Olugero lw'ejjinja ery'omuwendo
45“Obwakabaka obw'omu ggulu era bufaanaanyirizibwa n'omuntu omusuubuzi, anoonya amayinja ag'omuwendo. 46Bw'azuula ejjinja erimu ery'omuwendo ennyo, n'agenda n'atunda ebibye byonna by'alina, n'aligula.
Olugero lw'akatimba
47“Obwakabaka obw'omu ggulu era bufaanaanyirizibwa n'akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri. 48Bwe kajjula, ne bakasika okukatuusa ku lubalama. Ne batuula, ne balondamu ebirungi, ne babiteeka mu bisero, ebibi ne babisuula. 49Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi. Bamalayika balijja ne baawula abantu ababi mu balungi, 50ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.
Ebiggya n'ebikadde
51“Ebyo byonna mubitegedde?” Ne bamugamba nti: “Weewaawo.” 52N'abagamba nti: “Kale nno buli munnyonnyozi w'amateeka afuuse omuyigirizwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu, afaanaanyirizibwa n'omuntu alina ennyumba ye: aggya mu kisenge mw'atereka, ebintu ebiggya n'ebikadde.”
Ab'e Nazaareeti bagaana okukkiriza Yesu
(Laba ne Mak 6:1-6; Luk 4:16-30)
53Awo olwatuuka, Yesu bwe yamaliriza engero ezo, n'ava mu kifo ekyo, 54n'ajja mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe. Ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono amagezi gano yagaggya wa, n'eby'amaanyi by'akola? 55Ono si ye mwana w'omubazzi? Nnyina si ye ayitibwa Mariya? Ne baganda be si Yakobo ne Yosefu, ne Simooni ne Yuda? 56Ne bannyina bonna tebabeera kwaffe? Kale ebyo byonna abiggya wa?” 57Awo ne bamukwatirwa obuggya.
Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”#Laba ne Yow 4:44 58Era teyakolerayo byamagero bingi, kubanga tebaalina kukkiriza.

Currently Selected:

MATAYO 13: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in