YouVersion Logo
Search Icon

HABAKUUKU 2

2
Mukama ayanukula Habakuuku
1Nja kulinnya waggulu
ku munaala we nkuumira,
nninde okumanya
Mukama by'anampa okwogera,
ne by'ananziramu
ku kwemulugunya kwange.
2Awo Mukama n'anziramu nti:
“Bye nkulaga biwandiike
obyole bulungi ku bipande,
bibe byangu okusoma.
3Bikuume mu buwandiike,
kubanga bikyalinda
ekiseera kyabyo kituuke.
Naye ekiseera tekirirwa,
bye nkulaga bituukirire.
Ne bwe kirabika nti kirwawo
kirindirire, tekirirema kujja,
era kiryanguwako.#Laba ne Beb 10:37
4Buno bwe bubaka nti:
‘Omwonoonyi talirama.
Naye omutuukirivu aliba mulamu
lwa kukkiriza kw'alina.’ ”#Laba ne Bar 1:17; Bag 3:11; Beb 10:38
Okuzikirira kw'aboonoonyi
5Ng'omwenge bwe gulimbalimba abagunywa,
n'abeekulumbaza bwe batyo bwe baba:
tebamatira era tebatereera.
Omululu gwe balina
mugazi nga magombe!
Bali nga Walumbe: nabo tebakkuta.
Kyebava bawangula buli ggwanga,
bafugenga abantu bonna.
6Abo bonna abawanguddwa
bakudaalira abawangudde
nga babayeeyereza nti:
“Tezibasanze mmwe
abeetuumako eby'abandi?
Kale mulituusa wa
okugenda nga mwebinika
emisango gy'abalemwa
okusasula amabanja?”
7Mmwe abawangudde,
nammwe temuligwa ku bbanja
ne musibibwa abababanja?
Mulirumbibwa abalabe
nga temumanyiridde,
babakankanye nammwe,
babanyage n'ebyammwe.
8Nga bwe mwanyaga abantu
ab'amawanga amangi,
abo abasigaddewo
balibanyaga nammwe
olw'okutemula abantu
n'okukambuwalira ensi
awamu era n'ebibuga,
n'ababibeeramu bonna.
9Zibasanze mmwe
abagaggawaza amaka gammwe
nga munyaga eby'abalala,
ne mwezimbira amayumba
mu bifo ebinywezeddwa,
nga tetuukibwayo babi.
10Wabula bye mwateesa
biswaza maka gammwe.
Mu kusaanyaawo abantu
ab'amawanga amangi,
mweretedde okuzikirira.
11N'amayinja gennyini mu bisenge
galeekaana okubanenya mmwe,
n'emiti egy'akasolya gigaanukula.
12Zibasanze mmwe
abazimbira ekibuga
ku kutemula abantu,
ne mukinywezaawo
nga muzza misango!
13Mukama, Nnannyinimagye ye yakkiriza
ab'amawanga ge muwangudde
bateganire bwereere,
ebizimbe byabwe nabyo
babizimbire muliro.
14Naye abali ku nsi balijjula
okumanya ekitiibwa kya Mukama,
ng'ennyanja bw'ejjula amazzi.#Laba ne Yis 11:9
15Zibasanze mmwe,
kubanga mwasunguwala
ne muswaza bannammwe,
nga mubaleetera okutagatta
ng'abatamiivu b'omwenge.
16Nammwe muliswazibwa
mu kifo ky'okuweebwa ekitiibwa.
Mulinywa omwenge ne mutagatta:
Mukama alibanywesa ekikopo
eky'obusungu bwe ababonereze,
mu kifo ky'ekitiibwa, muswale.
17Eby'obukambwe bye mwakola mu Lebanooni,
ka bibaddire mmwe kati.
Nga bwe mwazikiriza ebisolo,
mulitiisibwa ebisolo.
Mulituukibwako ebyo
olw'okutemula abantu
n'okukambuwalira ensi
awamu era n'ebibuga,
n'ababibeeramu bonna.
18Ekifaananyi kigasa ki?
Kintu buntu ekikolebwa omuntu.
Tekiyigiriza mazima wabula obulimba.
Eyakikola afunamu ki
okwesiga ekitayogera?
19Zibasanze mmwe
abagamba ekitittiriri
nti: “Zuukuka!”
Oba ejjinja nti: “Golokoka!”
Kino kinaababuulira ki?
Lwa kubikkibwako ffeeza ne zaabu,
naye tekirina bulamu.
20Naye Mukama
ali mu Ssinzizo lye ettukuvu.
Abantu bonna ku nsi
basirike mu maaso ge.

Currently Selected:

HABAKUUKU 2: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in