YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 14

14
Okusomoka Ennyanja Emmyufu
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Gamba Abayisirayeli badde emabega, basiisire mu maaso ga Pihahirooti, wakati wa Migidooli n'Ennyanja Emmyufu, okumpi ne Baali Zefoni. 3Kabaka w'e Misiri ajja kulowooza nti Abayisirayeli batambulatambula mu nsi nga tebalina gye badda, eddungu libasibye. 4Nja kukakanyaza kabaka omutima abawondere, ndyoke mpangule kabaka n'eggye lye, nneefunire ekitiibwa. N'Abamisiri balimanya nga Nze MUKAMA.” Abayisirayeli ne bakola bwe batyo.
5Kabaka w'e Misiri bwe baamubuulira nti abantu badduse, ye n'abakungu be ne bakyusa ekirowoozo, ne bagamba nti: “Kiki kino kye tukoze? Tulese Abayisirayeli bagende, baleme kutuweereza?” 6Awo kabaka n'ateekateeka amagaali ge n'eggye lye. 7N'atwala amagaali gonna ag'e Misiri, omuli n'ago olukaaga, agasingira ddala obulungi, nga gaduumirwa abakulu b'abaserikale. 8Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka w'e Misiri, n'awondera Abayisirayeli abaagenda nga beewaana. 9Eggye ly'Abamisiri wamu n'embalaasi zonna eza kabaka n'amagaali ge, n'abeebagadde embalaasi, ne babawondera, ne babatuukako nga basiisidde okumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pihahirooti, mu maaso ga Baali Zefoni.
10Abayisirayeli bwe baayimusa amaaso gaabwe, ne balaba kabaka w'e Misiri n'eggye lye nga babawondera, era nga basembedde, ne batya, ne bakaabirira Mukama abayambe. 11Ne bagamba Musa nti: “Mu Misiri temwali ntaana, kyewava otuleeta tufiire mu ddungu? Wagenderera ki okutuggya mu Misiri? 12Kino si kye twakugamba nga tukyali mu Misiri nti tuleke tuweereze Abamisiri? Waakiri okuweereza Abamisiri, okusinga okufiira mu ddungu!”
13Musa n'agamba abantu nti: “Temutya! Muyimirire buyimirizi mulyoke mulabe Mukama ky'anaakola okubalokola olwaleero, kubanga Abamisiri be mulaba kaakano, temuliddayo kubalabako nate. 14Mukama ajja kubalwanirira mmwe. Mubeere bakkakkamu.”
15Mukama n'agamba Musa nti: “Lwaki onsaba obuyambi? Gamba Abayisirayeli bagende mu maaso. 16Era situla omuggo gwo, ogugolole ku nnyanja, ogyawulemu wabiri, Abayisirayeli bagiyitemu nga nkalu. 17Nze nja kukakanyaza emitima gy'Abamisiri, bagiyingire okubawondera, ndyoke nneefunire ekitiibwa nga mpangudde kabaka n'eggye lye lyonna: amagaali ge n'abantu be abeebagadde embalaasi. 18Abamisiri banaamanya nga Nze MUKAMA, bwe nnaamala okuwangula kabaka n'amagaali ge n'abantu be abeebagadde embalaasi.”
19Malayika wa Mukama eyakulemberamu eggye ly'Abayisirayeli, n'avaayo n'adda emabega waabwe. N'empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira emabega waabwe, 20n'ebeera wakati w'Abamisiri n'Abayisirayeli. Ekire ne kireetera Abamisiri ekizikiza, naye ne kiwa Abayisirayeli ekitangaala, ne batasembereragana ekiro kyonna.
21Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, Mukama n'asindika ku nnyanja omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba. Ne gukunta ekiro kyonna, ennyanja n'agifuula olukalu: amazzi ne geeyawulamu wabiri. 22Abayisirayeli ne bayita wakati mu nnyanja, amazzi ne gakola ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n'olwa kkono.#Laba ne 1 Kor 10:1-2; Beb 11:29 23Abamisiri ne babawondera mu nnyanja, nga bali n'embalaasi zonna eza kabaka w'e Misiri, n'amagaali ge, n'abantu be abeebagadde embalaasi. 24Obudde bwe bwali bunaatera okukya, Mukama n'atunuulira eggye ly'Abamisiri, n'alitabulatabula ng'asinziira mu mpagi ey'omuliro n'ekire. 25N'asibaganya nnamuziga z'amagaali gaabwe, ne bakaluubirirwa okugavuga. Abamisiri ne bagamba nti: “Tudduke Abayisirayeli, kubanga Mukama ye atulwanyisa ng'abalwanirira!”
26Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nnyanja amazzi gadde, geeyiwe ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku bantu baabwe abeebagadde embalaasi.”
27Awo Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, era ku makya, ennyanja n'edda mu mbeera yaayo eya bulijjo. Abamisiri ne bagezaako okugidduka, naye Mukama n'agibasuulamu wakati. 28Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali n'abeebagadde embalaasi, era n'eggye lya kabaka w'e Misiri lyonna, eryawondera Abayisirayeli mu nnyanja, ne watawonawo n'omu ku bo. 29Naye Abayisirayeli ne batambulira awakalu okuyita mu nnyanja, ng'amazzi gabakoledde ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n'olwa kkono.
30Bw'atyo Mukama, Abayisirayeli n'abawonya Abamisiri ku lunaku olwo. Abayisirayeli ne balaba Abamisiri ku lubalama lw'ennyanja nga bafudde. 31Abayisirayeli bwe baalaba obuyinza obw'amaanyi, Mukama bwe yawanguzisa Abamisiri, ne batya Mukama, era ne bamukkiriza, ne bakkiriza ne Musa omuweereza we.

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 14: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in