YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 8

8
Yesu awonya omugenge
(Laba ne Mak 1:40-45; Luk 5:12-16)
1Yesu bwe yava ku lusozi, ekibiina ky'abantu ne kimu goberera. 2Awo omugenge n'ajja gy'ali n'amusinza, n'agamba nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
3Yesu n'agolola omukono n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, wona.” Amangwago ebigenge ne bimuwonako. 4Yesu n'amugamba nti: “Laba, tobuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”#Laba ne Leev 14:1-32
Yesu awonya omuddu w'omuserikale Omurooma
(Laba ne Luk 7:1-10)
5Yesu bwe yayingira mu Kibuga Kafarunawumu, Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira 6ng'agamba nti: “Ssebo, omuddu wange ali waka, obulwadde bumugongobazizza, alumizibwa nnyo.”
7Yesu n'amugamba nti: “Ka njije, mmuwonye.” 8Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale n'addamu nti: “Ssebo, sisaanira, ggwe okuyingira mu nnyumba yange, wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona. 9Nange ndi muntu mutwalibwa, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti ‘Genda’, agenda; n'omulala nti ‘Jjangu’, ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino’, akikola.”
10Yesu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti: sisanganga alina kukkiriza nga kuno wadde mu bantu ba Yisirayeli! 11Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne batuula ku mbaga ne Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo mu Bwakabaka obw'omu ggulu,#Laba ne Luk 13:29 12naye abo abandibubaddemu, ne bagoberwa ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.”#Laba ne Mat 22:13; 25:30; Luk 13:28 13Awo Yesu n'agamba Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale nti: “Genda, kikukolerwe nga bw'okkirizza.” Omuddu n'awona mu kaseera ako.
Yesu awonya abantu bangi
(Laba ne Mak 1:29-34; Luk 4:38-41)
14Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyina wa muka Peetero ng'ali ku ndiri, omusujja gumuluma. 15N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako, n'agolokoka, n'aweereza Yesu.
16Obudde nga buwungedde, ne baleetera Yesu abantu bangi abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako ng'agiboggolera, era bonna abaali balwadde, n'abawonya. 17Ekyo kyali bwe kityo, omulanzi Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Ye yennyini yatwala obuyongobevu bwaffe, n'aggyawo endwadde zaffe.”#Laba ne Yis 53:4
Abandibadde abagoberezi ba Yesu
(Laba ne Luk 9:57-62)
18Yesu bwe yalaba ng'abantu bangi nnyo bamwetoolodde, n'alagira nti: “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja.” 19Awo omunnyonnyozi w'amateeka omu n'ajja, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.”
20Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu. Naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.”
21Omuntu omulala, omu ku bayigirizwa be, n'amugamba nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” 22Kyokka Yesu n'amugamba nti: “Yita nange, leka abo abali ng'abafu, baziike abafu baabwe.”
Yesu akkakkanya omuyaga
(Laba ne Mak 4:35-41; Luk 8:22-25)
23Awo Yesu n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne ba genda naye. 24Omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, amayengo ne gabikka eryato. Yesu yali yeebase. 25Abayigirizwa be ne basembera w'ali, ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Mukama waffe, tuwonye, tufa!” 26Yesu n'abagamba nti: “Lwaki mutidde? Nga mulina okukkiriza kutono!” N'agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteekera ddala.
27Bonna ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga n'amayengo bimuwulira!”
Yesu awonya abasajja babiri abaliko emyoyo emibi
(Laba ne Mak 5:1-20; Luk 8:26-39)
28Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja, mu nsi y'Abagadara, abantu babiri abaliko emyoyo emibi, ne bamusisinkana nga bava mu mpuku eziziikibwamu abafu. Abasajja bano baali bakambwe nnyo, nga tewali muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. 29Ne bawowoggana nga bagamba nti: “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze okutubonyaabonya ng'ekiseera tekinnatuuka?”
30Waaliwo eggana ddene ery'embizzi nga zeesuddeko akabanga okuva we baali, nga zirya. 31Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu nti: “Oba ng'otugoba ku bantu bano tusindike mu ggana ly'embizzi.” 32Yesu n'agigamba nti: “Mugende.” Ne gibavaako, ne giyingira mu mbizzi. Eggana lyonna ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifiira mu mazzi.
33Abaali bazirabirira ne badduka, ne balaga mu kibuga, ne bannyonnyola byonna, n'ebikwata ku bali abaabaddeko emyoyo emibi. 34Bonna ne bava mu kibuga okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe.

Currently Selected:

MATAYO 8: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in