YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 7

7
Okusalira abalala omusango
(Laba ne Luk 6:37-38,41-42)
1“Temusalanga musango, nammwe guleme kubasalirwa. 2Kubanga, nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa. Era ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe.#Laba ne Mak 4:24 3Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo? 4Oba ogamba otya muganda wo nti: ‘Leka nkuggye akasubi ku liiso,’ sso nga ku liiso eriryo kuliko ekisiki? 5Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
6“Ekitukuvu temukiwanga mbwa, sikulwa nga zibakyukira ne zibaluma. Era amayinja gammwe ag'omuwendo temugasuulanga mu maaso ga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira.
Okusaba, okunoonya, n'okukonkona
(Laba ne Luk 11:9-13)
7“Musabe, muliweebwa. Munoonye, mulizuula. Mukonkone ku luggi, muliggulirwawo, 8kubanga buli asaba afuna, oyo anoonya azuula, n'oyo akonkona ku luggi aggulirwawo. 9Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng'amusabye omugaati, 10oba amuwa omusota ng'amusabye ekyennyanja? 11Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebirungi abo ababimusaba?
12“Kale nno byonna bye mwagala abalala babakolere mmwe, nammwe mubibakolerenga. Ekyo Amateeka n'enjigiriza y'abalanzi kye bitegeeza.#Laba ne Luk 6:31
Omuzigo omufunda
(Laba ne Luk 13:24)
13“Muyingirire mu muzigo omufunda, kubanga omuzigo oguyingira mu kuzikirira gwo mugazi, n'ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu. 14Omuzigo oguyingira mu bulamu mufunda, n'ekkubo erituukayo lya kanyigo, n'abali zuula batono.
Omuti n'ebibala byagwo
(Laba ne Luk 6:43-44)
15“Mwekuume abalanzi ab'obulimba, abajja gye muli nga kungulu bafaanana ng'endiga, sso nga munda gye misege eminyazi. 16Mulibategeerera ku bikolwa byabwe. Abantu emizabbibu baginoga ku kawule, oba emitiini baginoga ku busaana?
17“Omuti omulungi gubala ebibala birungi, naye omuti omubi gubala ebibala bibi. 18Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. 19Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gusuulibwa mu muliro.#Laba ne Mat 3:10; Luk 3:9
20“Bwe kityo nno, ku bikolwa byabwe kwe mulibategeerera.#Laba ne Mat 12:33
Sibamanyangako
(Laba ne Luk 13:25-27)
21“Omuntu addiŋŋana okumpita obuyisi nti: ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira Obwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala. 22Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwayigirizanga mu linnya lyo? Tetwagobanga emyoyo emibi ku bantu nga tukozesa erinnya lyo? Era tetwakolanga ebyamagero bingi mu linnya lyo?’ 23Nze ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe. Muve we ndi mmwe abajeemu.’#Laba ne Zab 6:9
Abazimbi ababiri
(Laba ne Luk 6:47-49)
24“Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'abikolerako, aliba ng'omusajja ow'amagezi, eyazimba ennyumba ye ku lwazi, 25Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, sso n'etegwa, kubanga yazimbibwa ku lwazi.
26“Ate buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'atabikolerako, aliba ng'omusajja omusirusiru, eyazimba ennyumba ye ku musenyu. 27Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, n'egwa, n'emenyekerawo ddala.”
Obuyinza bwa Yesu
28Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo, ekibiina ky'abantu ne kyewuunya engeri gye yayigirizaamu,#Laba ne Mak 1:22; Luk 4:32 29kubanga yayigiriza nga nnannyini buyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka.

Currently Selected:

MATAYO 7: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in