YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 20

20
Abakozi b'omu nnimiro y'emizabbibu
1“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu nnannyini nnimiro y'emizabbibu, eyakeera ku makya ennyo okunoonya abakozi ab'okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu.
2“Bwe yamala okukkiriziganya nabo okubasasula denaari emu#20:2 denaari emu: Ye yabanga empeera y'omupakasi ey'olunaku. olunaku, n'abasindika okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu. 3Era n'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde awo mu katale, nga tebalina kye bakola. 4N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu mukole, nnaabasasula ekibasaanira.’ 5Ne bagenda. N'afuluma nate ku ssaawa nga mukaaga, ne ku ssaawa nga mwenda, n'akola ekintu kye kimu. 6Era ne ku ssaawa nga kkumi n'emu n'afuluma, n'asanga abalala nga bayimiridde, n'ababuuza nti: ‘Lwaki muyimiridde wano olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’
7“Ne bamuddamu nti: ‘Kubanga tewali yatututte kumukolera.’ N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey'emizabbibu.’
8“Obudde bwe bwawungeera, nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba musajja we alabirira abakozi, nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe, ng'otandikira ku baasembyeyo okujja okukola, osembyeyo abaasoose ku mulimu.’#Laba ne Leev 19:13; Ma 24:15
9“Abo abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne basasulwa denaari emu buli omu. 10Ababereberye ku mulimu bwe bajja okusasulwa, ne balowooza nti banaafuna kinene okusinga ku kya bali kye bafunye. Naye nabo ne bafuna denaari emu buli omu.
11“Bwe baazifuna, ne beemulugunyiza nnannyini nnimiro, 12nga bagamba nti: ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obasasula kye kimu nga ffe abaakoze omulimu olunaku lwonna, nga n'essana litwokya?’ 13Kyokka ye n'addamu omu ku bo nti: ‘Munnange, sikulyazaamaanyizza. Tewalagaanye nange denaari emu? 14Twala eyiyo, ogende. Njagadde okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe. 15Sikkirizibwa kukozesa byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya kubanga ndi mulungi?’
16“Bwe batyo ab'oluvannyuma, baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye, baliba ab'oluvannyuma.”#Laba ne Mat 19:30; Mak 10:31; Luk 13:30
Yesu ayogera omulundi ogwokusatu ku kufa kwe
(Laba ne Mak 10:32-34; Luk 18:31-34)
17Yesu bwe yali ng'ayambuka e Yerusaalemu, n'azza ku bbali abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti: 18“Laba twambuka e Yerusaalemu, era eyo Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa, 19era bamuweeyo mu b'amawanga amalala okumusekerera, n'okumukubisa embooko eriko amalobo agasuna, n'okumukomerera ku musaalaba. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
Okusaba kwa nnyina wa Yakobo ne Yowanne
(Laba Mak 10:35-45)
20Awo nnyina w'abatabani ba Zebedaayo n'ajja ne batabani be eri Yesu, n'amufukaamirira, n'abaako ky'amusaba. 21Yesu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” N'amuddamu nti: “Suubiza nti mu Bwakabaka bwo, batabani bange bano bombi, balituula nga bakuliraanye, omu ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.”
22Yesu n'addamu nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamuddamu nti: “Tusobola.” 23Yesu n'abagamba nti: “Ddala ekikopo kyange eky'okubonaabona mulikinywako. Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa Kitange.”
24Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira abooluganda bombi. 25Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali. N'abagamba nti “Mumanyi ng'abafuzi b'abantu ab'ensi baagala kuweerezebwa. Era ababa n'obuyinza, bafugisa bukambwe.#Laba ne Luk 22:25-26 26Naye mu mmwe, si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne.#Laba ne Mat 23:11; Mak 9:35; Luk 22:26 27Era buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe, ateekwa okuba omuddu wa bonna, 28okufaanana ng'Omwana w'Omuntu, atajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe, ng'omutango okununula abangi.”
Yesu awonya bamuzibe babiri
(Laba ne Mak 10:46-52; Luk 18:35-43)
29Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bava e Yeriko, ekibiina ky'abantu kinene ne kimugoberera. 30Bamuzibe babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, ne bawulira nti Yesu ayitawo, ne batandika okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!”
31Abantu ne bababoggolera basirike. Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!” 32Awo Yesu n'ayimirira n'abayita, n'ababuuza nti: “Mwagala mbakolere ki?”
33Ne baddamu nti: “Ssebo tuzibule amaaso.”
34Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe. Amangwago ne basobola okulaba, ne bagenda naye.

Currently Selected:

MATAYO 20: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in