YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 19

19
Yesu ayigiriza ku butagattululwa bw'abafumbo
(Laba ne Mak 10:1-12)
1Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ava e Galilaaya, n'alaga mu kitundu ky'e Buyudaaya, emitala w'omugga Yorudaani. 2Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n'abawonyeza eyo.
3Abamu ku Bafarisaayo ne bagamba nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we, ng'amulanga buli nsonga yonna?”
4Yesu n'abaddamu nti: “Temusomangako nti olubereberye Katonda yatonda omusajja n'omukazi,#Laba ne Nta 1:27; 5:2 5Katonda n'agamba nti: ‘N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n'abeera ne mukazi we, bombi ne baba omuntu omu?’#Laba ne Nta 2:24 6Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.”
7Abafarisaayo ne bamubuuza nti: “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ekakasa bw'amugobye, olwo alyoke amweggyireko ddala?”#Laba ne Ma 24:1-4; Mat 5:31
8Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe. Naye olubereberye, tekyali bwe kityo. 9Era mbagamba nti buli agoba mukazi we okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze.”#19:9 Ebiwandiiko ebimu eby'edda byongerako nti: “Era oyo awasa omukazi agobeddwa bba, aba ayenze,” mpozzi nga birabira ku 5:32.#Laba ne Mat 5:32; 1 Kor 7:10-11
10Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Oba nga bwe biri bwe bityo wakati w'omusajja ne mukazi we, ekisinga butawasa.”
11Yesu n'abaddamu nti: “Si bonna abasiima ekigambo ekyo, wabula abo Katonda b'akiwa. 12Kubanga waliwo abalaawe, abaazaalibwa bwe batyo, waliwo abalaawe, abalaayibwa abantu, era waliwo abalaawe abeeraawa bokka olw'Obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukisiima akisiime.”
Yesu awa abaana abato omukisa
(Laba ne Mak 10:13-16; Luk 18:15-17)
13Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko era abasabire eri Katonda. Kyokka abayigirizwa ne babaziyiza nga bababoggolera. 14Yesu n'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka obw'omu ggulu.” 15N'abakwatako, n'ava mu kifo ekyo.
Omuvubuka omugagga
(Laba ne Mak 10:17-31; Luk 18:18-30)
16Awo omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti: “Muyigiriza, kirungi ki kye nteekwa okukola, okufuna obulamu obutaggwaawo?”
17Yesu n'amuddamu nti: “Lwaki ombuuza ku kirungi? Omulungi ali Omu. Naye oba nga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro bya Katonda.”
18N'amubuuza nti: “Biruwa?” Yesu n'addamu nti: “Tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu.#Laba ne Kuv 20:13-16; Ma 5:17-20 19Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Era yagalanga muntu munno, nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”#Laba ne Kuv 20:12; Ma 5:16; Leev 19:18
20Omuvubuka n'agamba Yesu nti: “Ebyo byonna nabituukiriza. Kiki ekikyambulako okukola?” 21Yesu n'amugamba nti: “Oba ng'oyagala okuba atuukiridde, genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
22Omuvubuka ono bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi.
23Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti: omugagga kirimubeerera kizibu okuyingira Obwakabaka obw'omu ggulu. 24Era mbagamba nti: kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
25Abayigirizwa bwe baawulira, ne bawuniikirira nnyo, ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?”
26Yesu n'abatunuulira n'agamba nti: “Kino abantu tebakiyinza, wabula Katonda ayinza byonna.”
27Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe byonna tulyoke tuyitenga naawe. Kale tulifuna ki?”
28Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti: Omwana w'Omuntu bw'alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa, nga byonna bizzibwa obuggya, nammwe abayita nange, mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, ne musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.#Laba ne Mat 25:31; Luk 22:30 29Era buli muntu eyaleka ennyumba oba baganda be, oba abaana, oba ebibanja ku lwange, alifuna ebisingawo obungi emirundi kikumi, n'aweebwa n'obulamu obutaggwaawo. 30Naye bangi ab'olubereberye, abaliba ab'oluvannyuma, era bangi ab'oluvannyuma, abaliba ab'olubereberye.#Laba ne Mat 20:16; Luk 13:3

Currently Selected:

MATAYO 19: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in