ENTANDIKWA 10
10
Bazzukulu b'abaana ba Noowa
(Laba ne 1 Byom 1:5-23)
1Bano be bazzukulu b'abaana ba Noowa. Seemu, Haamu ne Yafeeti, abo abasatu baazaala abaana ng'omujjuzo gw'amazzi gumaze okubaawo.
2Abaana ba Yafeeti be bano: Gomeri, Magogi, Madayi, Yavani, Tubali, Meseki, ne Tirasi. 3Abaana ba Gomeri, ye Asukenaazi, ne Rifati, ne Togaruma. 4Abaana ba Yavani be bano: Elisa, Tarusiisi, Kittimu, ne Dodanimu. 5Abo be baasibukamu abantu abali ku lubalama lw'ennyanja, ne ku bizinga. Abo be bazzukulu ba Yafeeti, nga bwe bali mu bika byabwe, ne mu mawanga gaabwe, era ne mu nnimi zaabwe ze boogera.
6Abaana ba Haamu be bano: Kuusi, Misiri,#10:6 Misiri: Oba “Misurayimu;” ne “Libiya,” oba “Puuti.” Libiya ne Kanaani. 7Abaana ba Kuusi be bano: Seba ne Avila, Sabuta, ne Raama, ne Sabuteka. Abaana ba Raama, ye Seba ne Dedani. 8Kuusi ye kitaawe wa Nimuroodi eyasooka okuba omusajja omuzira ku nsi. 9Yayambibwa Mukama, n'aba muyizzi muzira. Abantu kyebaavanga bagamba nti: “Mukama akufuule muyizzi muzira nga Nimuroodi!” 10Mu kusooka, obwakabaka bwe bwali buzingiramu Babeeli, Ereki, ne Akaadi, byonna eby'omu nsi Sinaari. 11Bwe yava mu nsi eyo, n'alaga mu Assiriya, n'azimba ebibuga Nineeve, Rehoboti Iri, Kala, 12ne Reseni, ekiri wakati wa Nineeve, n'ekibuga ekinene Kala.
13Misiri n'azaala Ludiimu ne Anamiimu ne Lehabiimu, ne Nafutuhiimu ne 14Paturusiimu ne Kasilukimu, abaasibukamu Abafilistiya ne Kafutorimu.
15Kanaani n'azaala Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keeti. 16Kanaani era ye yasibukamu Abayebusi n'Abaamori, n'Abagirugaasi, 17n'Abahiivi, n'Abasiini, 18n'Abaruvaadi, n'Abazemari, n'Abahamati. Awo ebika by'Abakanaani we byava okubuna, 19ensalo z'ensi yaabwe ne ziva e Sidoni okwolekera Gerari, okumpi ne Gaaza, ne zituuka e Sodoma ne Gomora, ne Aduma, ne Beboyimu, okumpi ne Lasa. 20Abo be bazzukulu ba Haamu mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera.
21Ne Seemu mukulu wa Yafeeti, era jjajja w'abaana ba Eberi, n'azaala abaana. 22Abaana be, be bano: Elamu, Assuri, Arupakusaadi, Ludi ne Aramu. 23Abaana ba Aramu ye: Wuuzi, Kuuli, Geteri ne Maasi. 24Arupakusaadi ye azaala Seela, kitaawe wa Eberi. 25Eberi yalina abaana babiri, omu nga ye Pelegi,#10:25 Pelegi: Mu Lwebureeyi, livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Okwawulamu.” kubanga mu mulembe gwe ensi mwe zaayawulibwamu, omulala nga ye Yokutaani. 26Yokutaani n'azaala Alumodaadi ne Selefu, ne Azarumaveeti, ne Yera, 27ne Adoramu, ne Wuuzali, ne Dikula, 28ne Obali, ne Abimayeli, ne Seba, 29ne Ofiri ne Avila, ne Yobabu. Abo bonna baana ba Yokutaani. 30Ensi mwe baali, yava ku Mesa, n'etuuka ku Sefari, ensi ey'ensozi mu buvanjuba. 31Abo be bazzukulu ba Seemu, mu bika byabwe ne mu nsi zaabwe, buli bamu n'olulimi lwabwe lwe boogera.
32Abantu abo bonna be bazzukulu ba Noowa, nga bwe bali mu bika byabwe ne mu mawanga gaabwe. Era mu abo mwe mwava amawanga ne gasaasaanira ensi, ng'omujjuzo gw'amazzi gumaze okubaawo.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 10: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.