YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kya Esideraasi Ekyokubiri ebikulu ebikirimu bya kulabikirwa na kubikkulirwa bintu ebyo ebiribaawo. Kyawandiikibwa Omuyudaaya omu atamanyiddwa mannya. Yakiwandiika mu Lwebureeyi oba mu Lwaramayika ne kikyusibwa mu Luyonaani, ate ne kyongerwako ennyanjula n'ekitundu ekyakookerwako, ebyava mu bagoberezi ba Kristo. Ekiwandiiko ekyasooka mu Lwebureeyi era n'ekyakyusibwa mu Luyonaani byabula, wabula ekikyakuumibwa ku byasooka kiri mu Lulattini.
Ekitundu ekisinga obunene kyogera ku kubikkulirwa kwa mirundi musanvu okwaweebwa Seyalutiyeli, amanyiddwa nga Ezera. Era kirimu ebibuuzo n'okuddibwamu ku bikwata ku kibi, okubonaabona, okuyigganyizibwa, enkomerero y'ensi n'okulamulibwa era n'ensi empya.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Ennyanjula 1:1–2:48
Okulabikirwa okusooka 3:1–5:19
Okulabikirwa okwokubiri 5:20–6:34
Okulabikirwa okwokusatu 6:35–9:25
Okulabikirwa okwokuna 9:26–10:59
Okulabikirwa okwokutaano 11:1–12:50
Okulabikirwa okw'omukaaga 12:51–13:36
Okulabikirwa okw'omusanvu 13:57–14:48
Okulanga okwayongerwako 15:1–16:78

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in