YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 15

15
Akabi akalituuka ku boonoonyi
1Mukama agamba nti: ‘‘Tegeeza abantu bange ebigambo eby'obulanzi bye nnaakuwa okwogera. 2Laba nti biwandiikibwa kubanga byesigibwa era bya mazima. 3Totya abo abalowooza ebibi ku ggwe, era teweeraliikirira aboogera eby'okukuwakanya, 4kubanga buli atakkiriza, wa kufa olw'obutakkiriza bwe.”
5Mukama agamba nti: ‘‘Nja kuleeta ku nsi eby'akabi ebitiisa: entalo, n'enjala, okufa n'okuzikirira, 6kubanga ebibi bisaasaanidde ensi yonna, era ebikolwa ebibi biyitiridde obungi.” 7Mukama kyava agamba nti: 8‘‘Sijja kwongera kusirika ku bibi byabwe eby'obutatya Katonda. Sikyabigumiikiriza. Omusaayi gw'abantu be basse nga tebalina musango, guleekaana mu maaso gange, n'emyoyo gy'abatukuvu tegita kunsaba kuwoolera ggwanga.” 9Mukama agamba nti: ‘‘Tewali kubuusabuusa, nja kuwulira okusaba kw'abo abattibwa nga tebalina musango, mpoolere eggwanga ku lwabwe.
10‘‘Abantu bange batwalibwa okuttibwa nga bali ng'endiga. Sijja kubakkiriza kusigala mu Misiri. 11Naye nja kukozesa amaanyi gange n'obuyinza bwange mbaggyeyo. Abamisiri nja kubabonereza nga bwe nakola edda, era nja kuzikiriza ensi yaabwe. 12Misiri yonna ejja kukaaba. Nze Mukama nja kugibonereza ngiyuuguumye, bwe nnaagikuba ne ngisekulasekula. 13Abalimi bajja kukaaba, kubanga ensigo zijja kugaana okumera, emiti gyabwe gizikirizibwe obulwadde n'omuzira ne kibuyaga eby'entiisa.
14‘‘Ensi yonna n'abagiriko zijja kubasanga! 15Olutalo olw'okubazikiriza luli kumpi. Eggwanga erimu lijja kusitukira mu ddala lirirwanyise. 16Abantu balitabukatabuka, ekibiina ekimu ne kirwanyisa ekirala, kyo kye kiba kifuga, nga tebakyafa ku muntu alina obuyinza oba obukulu. 17Abantu balyagala okutuuka mu bibuga, ne batasobola, 18kubanga okukaayanira obuyinza kulizikiriza ebibuga, kuleetere abantu okutya n'okweraliikirira. 19Olw'enjala n'okubonaabona okungi, abantu balirumba bannaabwe, ne babanyagako ebyabwe.”
20Katonda agamba nti: ‘‘Mpita bakabaka bonna ab'omu nsi, okuva mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, n'okuva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, bakyuke era bakomyewo bye baatwala. 21Nja kubakola nabo bye bakola bulijjo abantu bange abalondemu. Nja kubasasula kye kimu ekyo nabo kye bakola.”
22Mukama agamba nti: ‘‘Nja kukozesa obuyinza bwange era aboonoonyi sijja kubakwasa kisa. Nja kutta bonna abatemula abantu abatalina musango. 23Obusungu bwange bukoledde omuliro okwokya emisingi gy'ensi, era n'aboonoonyi ng'ebisubi.” 24Mukama agamba nti: ‘‘Aboononyi abatakwata biragiro byange, zibasanze! 25Sijja kubakwatirwa kisa. Muve we ndi mmwe abajeemu! Temwonoona Ssinzizo lyange ettukuvu.”
26Katonda amanyi bulungi bonna abakola ebibi ne bamunyiiza era ajja kubawaayo bafe bazikirire. 27Akabi kaamala dda okugwira ensi, era temulina bwe mukawona. Katonda talibawonya, kubanga mwayonoona ne mumunyiiza.
Okulaba ebitiisa
28Muliraba ebiriva ebuvanjuba ebitiisa. 29Amagye galiva e Buwarabu n'ebigaali bingi, ne gajja ng'agasolo. Bwe galisituka okujja, okuwuuma kwago kulisaasaanira ensi, ne kutiisa era ne kukankanya buli alikuwulira. 30Abakarumooni abaliva mu kibira, ne bafubutuka n'amaanyi ng'engiri enkambwe okugalwanyisa. Engiri ezo zirikozesa amasanga gaazo ne zisaanyaawo ekitundu kya Assiriya. 31Naye oluvannyuma, agasolo galiddamu amaanyi gaago ag'edda, ne geegatta wamu, ne gawangula. Galikyuka ne gawondera engiri 32ezirigwibwamu entiisa, ne zisirisibwa era ne ziwalirizibwa okukyuka zidduke. 33Zirizingizibwa mu Assiriya, emu ku zo n'ettibwa. Olwo amagye gaazo galitya ne gakankana, bakabaka baazo baliremwa okutegeeragana.
34Amangwago ebire ebitiisa era ebijjudde obusungu ne kibuyaga biribikka eggulu nga biva ebuvanjuba ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo. 35Biritomeregana ne bigwa ne biyiwa ku nsi obusungu bwabyo obungi. Omusaayi oguliyiika mu lutalo gulituuka ku lubuto lw'embalaasi ng'eguyimiriddemu 36oba ku kisambi ky'omuntu oba ku vviivi ly'eŋŋamiya. 37Wonna ku nsi abantu balijjula okutya, ne bakankana okulaba eby'entiisa ebyo. 38Olwo ebire ebya kibuyaga omungi biriva mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ebirala bive ebugwanjuba, 39Naye embuyaga ez'ebuvanjuba zirisinza amaanyi, ne zizzaayo ebire ebyo ebya kibuyaga ow'obusungu, ebiriba bigenda okuleeta okuzikirira. 40Ebire ebinene eby'amaanyi era ebijjudde obusungu birisituka okuzikiriza ensi yonna n'abantu abgiriko. 41Kibuyaga ow'entiisa, ow'omuliro n'omuzira n'ebitala, alisaanyaawo ab'amaanyi n'ab'obuyinza. Emigga gyonna giribooga ku ttale, omujjuzo gw'amazzi ne guzikiriza 42ebibuga, ebigo, ensozi, obusozi, ebibira n'ebimera. 43Gulikulugguka ne gutuukira ddala n'e Babilooni, gukizingiremu, gukikube entiisa. 44Ebyo byonna eby'entiisa biryekuŋŋanyiza ku kyo, ne bikyetooloola, kibuyaga akunte, era obusungu bwonna bukiggweereko. Enfuufu n'omukka birisituka okutuuka ku ggulu. Ebibuga byonna ebiriraanyeewo birikungubagira Babilooni. 45Abaliwonawo balifuuka baddu b'abo abalizikiriza ekibuga.
Assiriya zirigisanga
46Naawe Asiya eyagabana ku bulungi ne ku kitiibwa kya Babilooni,#Laba ne Kub 14:8; 17:4-5 47zirikusanga, nkusaasidde! Kubanga naawe wakola nga kyo, ng'oyambaza bawala bo nga bamalaaya okusanyusa n'okuwaanibwa baganzi bo abakwegomba bulijjo. 48Nga bwe wagoberera ebikolwa n'entegeka za malaaya eyo embi, bino Mukama by'akugamba nti: 49‘‘Nja kukusindikira eby'akabi ebitiisa. Nja kukufuula nnamwandu, nkusindikire obwavu, n'enjala n'olutalo ne kawumpuli, bitte era bizikirize amaka go. 50Obuyinza n'ekitiibwa ebikwewuliza bijja kwokebwa ekibabu ky'ebbugumu, bikale ng'ekimuli. 51Ojja kufuuka omukazi omunaku, anafuye, akubiddwa, ajjudde ebiwundu, obe nga tokyasikiriza baganzi bo abagagga.” 52Mukama agamba nti: ‘‘Sandikubonerezza na bukambwe bwe butyo, 53singa tewatta bantu bange abalondemu. Wanyumirwanga okubakuba, era bwe wanywanga n'otamiira, nga weewaana olw'okubatta.
54‘‘Siiga amaaso go! 55Ojja kuweebwa empeera y'obwamalaaya, ofune ekikusaanira.” 56Mukama agamba nti: ‘‘By'okola abantu bange abalondemu, naawe Katonda by'alikukola, akusindikire eby'akabi. 57Olittibwa, abaana bo ne bafa enjala. Ebibuga byo birimenyebwa, n'abantu abali mu byalo balittibwa. 58Abali mu nsozi balifa enjala n'ennyonta, bibawalirize okwerya emibiri n'okwenywa omusaayi. 59Olinakuwala okusinga omuntu yenna bwe yali anakuwadde, naye ebibonyoobonyo ebirala biriba bikyajja. 60Eggye eryazikiriza Babilooni liriyita mu nsi yo, ne lizikiriza ekibuga kyo eky'emirembe. Abaserikale balyonoona ensi yo ennungi, ne baleka ekitundu ekisinga obunene nga matongo. 61Ensi yo baligizikiriza ng'ebisubi mu muliro. 62Balyokya ebibuga byo, ettaka lyo, ensozi zo, ebibira byo byonna n'emiti gyo egy'ebibala. 63Abaana bo balitwalibwa nga basibe, ebibyo birinyagibwa, obulungi bwo balibumalirawo ddala.”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 15: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in