YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 14

14
Eddoboozi eryava mu kisaka
1Ku lunaku olwokusatu, bwe nali ntudde wansi w'omuvule, 2eddoboozi ne liva mu kisaka ekyandi awo mu maaso, ne ligamba nti: ‘‘Ezera, Ezera!” Ne nziramu nti: ‘‘Nzuuno Mukama wange.” Ne nnyimirira.#Laba ne Kuv 3:4
3Eddoboozi ne lyongera nti: ‘‘Nneeyoleka Musa ne njogera naye nga ndi mu kisaka, abantu bange bwe baali abaddu mu Misiri. 4Namutuma okubakulembera abaggye e Misiri, ne mbaleeta ku lusozi ng'ali nange okumala ennaku nnyingi, 5nga mmubuulira ebyewuunyisa bingi, n'ebyama ebya ddi na ddi. Ne mmutegeeza n'ebifa ku nnaku ez'oluvannyuma. 6Ne mmwawuliramu eby'okwogera mu lwatu, n'eby'okukuuma nga bya kyama. 7Kaakano naawe nkulagira 8okwate mu mutwe obubonero bwe nkuwadde, n'ebirooto by'oloose n'amakulu gaabyo ge nkuwadde. 9Ojja kuggyibwa mu nsi eno otwalibwe, ogende obeere n'Omwana wange, n'abalala abali nga ggwe, okutuusa ku nkomerero y'ebiro. 10Ensi tekyali mpya. Ekiseera kyayo eky'okukaddiwa kituuse. 11Ekiseera kyayo ky'erimala, kyasalibwamu ebitundu kkumi na bibiri. Ekitundu eky'ekkumi kyatandika dda, era kiri mu makkati. 12Esigaddeyo bibiri n'ekitundu. 13N'olwekyo tereeza eby'omu nnyumba yo, olabule abantu bo, ogumye abeetoowaze, oyigirize abagezi, ove ku by'obulamu buno obufa. 14Weggyeemu okulowooza ku bintu by'ensi, weetikkule emigugu gy'olina egy'obwomuntu, weeyambule obunafu bwo obw'obuzaale. 15Byonna bye weeraliikirira biteeke ku bbali. Weeteeketeeke okuva ku nsi kuno amangu. 16Walaba dda ebibi bingi. Naye n'ebisingawo obubi gyebiri bijja. 17Ensi gy'ekoma okukaddiwa n'okunafuwa, n'ebibi ebijjira abantu abagiriko gye bikoma okweyongera obungi. 18Amazima gajja kweyongera okubulawo, obulimba busembere kumpi. Empungu gye walabye mu kirooto eri kumpi okutuuka.”
Ezera n'Ebyawandiikibwa Ebitukuvu
19Ne nziramu nti: ‘‘Mukama wange, ka njogerere mu maaso go. 20Neeteeseteese okugenda nga bw'olagidde, era nja kulabula abantu abaliwo. Naye ani alirabula abantu abatannazaalibwa? Ensi eno eri mu kizikiza, n'abagiriko tebalina kitangaala. 21Amateeka go gaasaanyizibwawo omuliro, n'olwekyo tewali ayinza kumanya bye wakola, wadde by'oyagala okukola. 22Kale oba ng'osiima, tuma Mwoyo wo Omutuukirivu mu nze, nsobole okuwandiika buli kimu ekyakolebwa mu nsi, okuviira ddala mu masooka, buli ekyawandiikibwa mu Mateeka go, olwo mu nnaku zino ez'enkomerero, abantu basobole okuzuula ekkubo ettuufu, era abaagala, basobole okuba abalamu.”
23N'anziramu nti: ‘‘Genda oyite abantu bakuŋŋaane, obategeeze baleme kukunoonya, okumala ennaku amakumi ana. 24Teekateeka bingi ebyetaagibwa mu kuwandiika, era oleete Seraya ne Dabuliya ne Selemiya, ne Etani ne Asiyeeli, bonna abo abataano abatendekeddwa obulungi okuwandiika amangu. 25Ojje wano, olwo nkukoleezeemu ettaala ey'amagezi, etajja kuzikira okutuusa lw'olimaliriza byonna by'onoowandiika. 26Bw'olimaliriza omulimu ogwo, ebimu olibimanyisa mu lwatu, ebirala olibiwa abantu abagezi, babikuume nga bya kyama. Enkya ku budde nga buno lw'onotandika okuwandiika.”
27Ne ŋŋenda ne nkola nga bwe yandagira, ne mpita abantu bonna, ne bakuŋŋaana ne ŋŋamba nti: 28‘‘Abayisirayeli, muwulire bye mbagamba. 29Edda bajjajjaffe baabeera e Misiri ng'abagwira, oluvannyuma ne bateebwa. 30Katonda n'abawa Amateeka agawa obulamu. Naye tebaagakuuma, era nammwe abaabaddirira, temwagakwata. 31Katonda n'abawa ensi entukuvu ebe yammwe. Naye nammwe mwali boonoonyi nga bajjajjammwe, ne mutagoberera makubo Katonda Atenkanika ge yabateerawo. 32Katonda nga bw'ali omulamuzi asala amazima, bwe waayitawo ekiseera n'abaggyako kye yali abawadde. 33Kaakano mwazaayira eno, naye waliwo n'ab'eggwanga lyammwe abali ewala okusinga mmwe. 34Naye bwe munaafuga ebirowoozo byammwe, ne mukkiriza okuyigirizibwa, mulikuumibwa nga muli bulungi mu bulamu bwammwe, era mulikwatirwa ekisa nga mufudde, 35kubanga okufa kuddirirwa okusalirwa omusango. Tuliddamu okuba abalamu, amannya g'abatukuvu gamanyike, n'ababi bye baakola biragibwe. 36Kale okuva kati tewaba n'omu ansemberera, wadde annoonya, okumala ennaku amakumi ana.”
37Awo ne ntwala abasajja abataano nga bwe nalagirwa, ne twolekera ettale, ne tubeera eyo. 38Ku lunaku olwaddako, ne mpulira eddoboozi nga limpita nti: ‘‘Ezera, yasamya akamwa ko onywe kye nkuwa.” 39Awo ne njasamya akamwa, ne nkwasibwa ekikopo ekijjudde ekintu ekiri ng'amazzi, naye nga langi yaakyo eri ng'ey'omuliro. 40Ne nkikwata ne nkinywa. Bwe namala okukinywa, omutwe gwange ne gubooga okutegeera, amagezi ne geeyongera obungi mu nze, kubanga obujjukizi bwange bwatandika okukola obulungi. 41Ne ntandika okwogera awatali kusalako. 42Katonda Atenkanika n'awa abasajja abo abataano amagezi, ne bawandiika mu mpalo bye njogera, nga bakozesa ennukuta ze baali batamanyi okusooka. Omulimu ogwo ne bagukolera ennaku amakumi ana, ng'emisana basiiba bawandiika, ne balya mu budde obw'ekiro. 43Nayogeranga olunaku lwonna, era nga n'ekiro sisirika. 44Mu nnaku amakumi ana, ebitabo kyenda mu bina bye byawandiikibwa.
45Ennaku amakumi ana bwe zaggwaako, Katonda Atenkanika n'aŋŋamba nti: ‘‘Bunyisa mu bantu ebitabo abiri mu ebina bye wasooka okuwandiika, abalungi n'ababi babisome. 46Naye ebitabo ensanvu ebisembayo ojja kubikuuma, obikwase abagezi mu bantu bo, 47kubanga mu byo mulimu engezi y'okutegeera n'ensulo y'amagezi, n'omugga ogw'okumanya.” 48Ne nkola bwe ntyo.
OKULANGA OKWAYONGERWAKO

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 14: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in