YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 13

13
Okulabikirwa
1Ennaku omusanvu bwe zaayitawo, mu kiro ekyaddirira ne ndoota ekirooto. 2Ne ndaba embuyaga ng'eva mu nnyanja, ng'esiikuula amayengo. 3Bwe neetegereza embuyaga eyo, n'ejjiramu ekiri ng'omuntu ng'abuukira ku bire. Bwe yakyusanga amaaso, nga buli kintu kye yatunulangako kikankana.#Laba ne Dan 7:13; 2 Esd 13:32 4Bwe yayogeranga, buli eyawuliranga eddoboozi lye ng'asaanuuka ng'envumbo, etuukiddwako omuliro.
5Era bwe natunula, ne ndaba ekibinja ky'abantu abangi ennyo abatabalika, nga bavudde mu njuyi zonna ez'ensi, bazze okulwanyisa oyo eyava mu nnyanja. 6Awo ne ndaba omuntu oyo ng'akokotawo olusozi olunene, n'abuuka mu bbanga okutuuka gye lubadde.#Laba ne Dan 2:45 7Nayagala okulaba ekitundu oba ekifo olusozi olwo gye lwakokotebwa, naye ne sisobola. 8Awo ne ndaba abantu bonna abaali bazze okumulwanyisa, nga bakwatiddwa ensisi kyokka era ne basigala nga beeteeseteese, okulwana. 9Bwe yalaba ekibinja ekinene nga kifubutuka okujja okumulumba, teyabaako kyakulwanyisa na kimu ky'akwata. 10Ekintu kyokka kye nalaba, kyali ekyo kye yafulumya mu kamwa ke, nga kiri ng'olulimi lw'omuliro, n'emimwa gye ne givaamu embuyaga ey'ennimi ez'omuliro. Olulimi lwe ne luwandula ensasi ne kibuyaga. Olulimi olw'omuliro n'embuyaga ey'ennimi z'omuliro, n'omuyaga, ne byegatta wamu byonna, 11ne bigwa kibwatukira ku kibinja ky'abantu abeeteeseteese okumulwanyisa, ne bibookera ddala bonna. Okutemya n'okuzibula, ng'ekibinja ky'abantu abo abatabalika, tekikyalabikako n'akatono, okuggyako evvu n'omukka oguwunya evvumbe. Bwe nalaba ekyo ne ntya nnyo.
12Awo ne ndaba omuntu oli ng'ava ku lusozi akka, era ng'ayita ekibinja ky'abantu ekirala, naye kino nga ky'abo abaagala emirembe, kijje gy'ali. 13Abantu aba buli ngeri ne bajja gy'ali: ng'abamu basanyufu ng'abalala banakuwavu. Abamu baali basibiddwa emikono n'amagulu, n'abamu nga baleese abantu ab'okuweebwayo eri Mukama ng'ekirabo.#Laba ne Yis 66:20
Amakulu g'ekirooto
Nasisimuka mu tulo nga ntidde nnyo, ne nsaba Katonda Atenkanika nti: 14‘‘Ayi Mukama, okuviira ddala mu kusooka, nze omuweereza wo, ozze ondaga bino ebyewuunyisa. Era wansiima, n'okkiriza okusaba kwange. 15Ne kaakano nsaba ondage amakulu g'ekirooto kino. 16Mu kulowooza kwange, zibasanze abo abaliba tebakyaliwo. 17Balisaalirwa nnyo, 18kubanga balisubwa ebisanyusa, ebyaterekerwa ennaku ez'enkomerero. 19Naye n'abo abaliba abalamu nga ziribasanga, kubanga baliyita mu kabi kanene ne mu bizibu bingi, ng'ebirooto bino bwe biraze! 20Naye waakiri okuyita mu kabi ako omuntu n'atuuka ku nkomerero, okusinga okuva ku nsi kuno n'ayita buyisi ng'ekire, n'atalaba na biribaawo ku nkomerero.”
21N'anziramu nti: ‘‘Nja kukunnyonnyola amakulu g'ebyo by'olabye, era nkuddemu byonna by'oyogeddeko. 22Kye weebuuzizza ku abo abaliba nga balamu ku nkomerero, nkiddamu bwe nti: 23Oyo aleeta akabi mu nnaku ezo, era ye alitaasa mu kabi abantu abalina ebikolwa ebirungi n'obwesigwa mu maaso ga Katonda ayinza byonna. 24Manya nti abasigalawo nga balamu, baba ba mukisa okusinga abo abafudde.
25‘‘Gano ge makulu g'okulabikirwa. Omuntu gwe walabye ayambuka ng'ava mu nnyanja, 26y'oyo Katonda Atenkanika gw'akuumye nga yeeteeseteese okumala emyaka mingi. Ye yennyini ye alirokola ebitonde, n'atereeza embeera y'abo abalisigalawo nga balamu. 27Walabye embuyaga n'omuliro n'omuyaga nga biva mu kamwa ke. 28Era walabye bw'azikiriza ekibinja ky'abantu ekinene ekyabadde kijja okumulwanyisa, n'akisaanyaawo nga takutte ffumu wadde ekyokulwanyisa ekirala kyonna. Ekyo kitegeeza nti: 29Ekiseera kiri kumpi Katonda Atenkanika atandike okulokola abantu ku nsi. 30Mu kiseera ekyo ab'oku nsi baliba mu ntiisa nnene. 31Balitandika okulwanagana, ekibuga ekimu kikube ekirala, ekitundu kirwanyise kinnaakyo, eggwanga lino lirwanagane na liri, n'obwakabaka bulwanyise obwakabaka obulala.#Laba ne Mat 24:7 32Ebyo bwe birigwawo, n'obubonero bwe nasoose okukulaga ne bubaawo, olwo ne ndyoka ntuma Omwana wange gw'olabye ng'afaanana ng'omuntu ava mu nnyanja. 33Ab'omu mawanga gonna bwe baliwulira eddoboozi lye, balirekawo ensi zaabwe, beerabire entalo ze balwanagana, 34bakuŋŋaane mu kibinja kimu ekirimu abantu abatabalika nga bwe walabye mu kirooto. Balyegatta nga balina omutima gumu: gwa kulwanyisa mwana wange. 35Naye ye aliyimirira ku ntikko y'Oluusozi Siyooni, 36ekibuga ekiggya Yerusaalemu abantu bonna bakirabe nga kiwedde okuzimbibwa, nga bwe walabye mu kirooto olusozi olwoleddwa, naye nga terwoleddwa mukono gwa muntu.#Laba ne 2 Esd 7:26; Kub 21:2,9 37Olwo Omwana wange amawanga ago agakuŋŋaanye aligasalira omusango okugasinga. 38Alibavunaana ebibi bye bateekateeka okukola, abategeeze okubonyaabonyezebwa kwe bagendako. Ezo ze nnimi z'omuliro. Olwo alikozesa Amateeka, n'abasaanyaawo awatali kutegana. Ekyo omuliro kye gutegeeza.
39‘‘Wamulabye ng'akuŋŋaanya ekibinja ekirala ekinene, eky'abantu abaagala emirembe. 40Bano bye bika ekkumi ebya Yisirayeli ebyatwalibwa mu busibe mu mirembe gya Kabaka Hoseya. Kabaka Salumaneseri owa Assiriya yabakwata n'abatwala mu nsi eteri yaabwe, ebuvanjuba bw'omugga Ewufuraate.#Laba ne 2 Bassek 17:1-6 41Naye ebika ebyo ekkumi, ne bisalawo obutasigala mu nsi eyo erimu ab'amawanga amalala abangi. Kyebaava beeyongerayo ebuvanjuba, mu nsi eyali tebeerangamu bantu, 42nga basuubira okukwatira eyo Amateeka agaabalema okukwatira mu nsi yaabwe. 43Bwe baali nga boolekedde okuyita awazibu mu Mugga Ewufuraate 44Katonda Atenkanika yabakolera ebyewuunyo, n'ayimiriza emyala gy'omugga okutuusa lwe baamala okusomoka. 45Olugendo lwabwe mu kitundu ekyo ekiyitibwa Aruzareti, lwali luwanvu. Baalumalamu omwaka gumu n'ekitundu. 46Okuva olwo ne babeerera ddala eyo. Kaakano mu nnaku zino ez'oluvannyuma, batandise okudda. 47Era Katonda Atenkanika aliddamu okuyimiriza emyala gy'omugga, basobole okusomoka. Ago ge makulu g'ekibinja ekinene kye walabye, eky'abantu abaagala emirembe. 48Naye mu bo mulibeeramu n'abantu b'eggwanga lyo bonna abaasigalawo, era abali mu nsi yange entukuvu. 49Ekiseera bwe kirituuka, Omwana wange okusaanyaawo ekibinja ky'abantu abakuŋŋaanye okuva mu mawanga gonna, alikuuma abantu be abasigaddewo, 50n'abalaga ebyamagero bingi.”
51Nze ne ŋŋamba nti: ‘‘Ssebo, Mukama wange, mbuulira: lwaki omuntu gwe nalabye yayambuse ng'ava mu nnyanja?”
52N'anziramu nti: ‘‘Nga bwe watali ayinza kwetegereza ntobo ya nnyanja n'okumanya ebiriyo, era bwe kityo tewali muntu ayinza kumanya Mwana wange, wadde abo abali naye, okutuusa ku lunaku olwateekebwawo. 53Ago ge makulu g'ebyo bye walabye mu kirooto. Era bino bibuuliddwako ggwe wekka, 54kubanga oleseeyo ebibyo byonna, ne weeweerayo ddala okukola ebyange, n'okwetegereza Amateeka gange. 55Obulamu bwo bwonna obuwaddeyo okwemalira ku magezi, era okutegeera kw'ofudde nga nnyoko. 56Katonda Atenkanika ky'avudde akuwa empeera, n'akulaga ebyo. Nga wayiseewo ennaku endala ssatu, nja kudda, nkubuulire ebikulu era ebyewuunyisa.”
57Awo ne ntambulako mu ttale, nga bwe nzisaamu ekitiibwa Katonda Atenkanika, era nga mmutendereza olw'ebyewuunyo by'akola mu biseera ye by'ategeka, 58kubanga ye afuga ebiseera byonna na buli ekibituukiramu. Nasigalayo okumala ennaku ssatu.
OKULABIKIRWA OKW'OMUSANVU

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 13: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in