YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 12

12
Amakulu g'ekirooto
1Empologoma yali ekyagamba empungu ebigambo ebyo, 2nagenda okulaba ng'omutwe ogwali gusigaddewo, gubuze. Awo ebiwaawaatiro ebitono ebyali bigenze awali omutwe ogwo ne bisituka okufuga. Naye obufuzi bwabyo bwali bwa kiseera kitono, nga bujjudde emitawaana. 3Bwe nagenda okutunula nga tebikyalabika, nga n'omubiri gw'empungu gwonna gwaka omuliro. Ensi n'etya nnyo. Nange ne neeraliikirira nnyo ne ntya, ne nzuukuka, ne ŋŋamba nti: 4‘‘Nze neeretedde bino nga ngezaako okumanya ebyo Katonda Atenkanika by'akola. 5Kale kaakano nkooye ne nzigweramu ddala amaanyi! Ebintiisizza ekiro kino bigammaliddemu ddala! 6Kaakano ka nsabe Katonda Atenkanika aŋŋumye okutuusa ku nkomerero.” 7Ne nsaba nti ‘‘Ssebo Mukama wange, oba ng'osiima era ng'ombala okuba akola ebituufu okusinga abalala bangi, era oba ng'owulira okusaba kwange, 8nkwegayiridde ompe amaanyi, era ommanyise amakulu g'ekirooto kino ekitiisa, 9kubanga walabye nga nsaanidde okulagibwa enkomerero y'omulembe guno oguliwo.”
10N'aŋŋamba nti: ‘‘Gano ge makulu g'okubikkulirwa kw'ofunye. 11Empungu gye walabye eyambuka ng'eva mu nnyanja, bwe bwakabaka obwokuna, muganda wo Daniyeli bwe yalaba mu kubikkulirwa.#Laba ne Dan 7:7 12Wabula ye teyaweebwa amakulu ge gamu nga ge nkuwa. 13Ekiseera kijja kutuuka, wabeewo obwakabaka mu nsi obutiisa okusinga obulala bwonna obwali bubaddewo. 14Ensi erifugibwa bakabaka kkumi na babiri abaddiriŋŋana. 15Kabaka owookubiri alifugira ebbanga ggwanvu okusinga buli mulala yenna mu abo ekkumi n'ababiri. 16Ago ge makulu g'ebiwaawaatiro ekkumi n'ebibiri bye walabye.
17‘‘Wawulidde eddoboozi nga lyogerera mu makkati g'omubiri gw'empungu, sso si mu mitwe gyayo. 18Ekyo kitegeeza nti obuyinza bwa kabaka owookubiri bwe buliggwaako, walibaawo okukaayanira obuyinza okulinafuya obwakabaka, wabula buliddawo nga bwe bwali mu kusooka.
19‘‘Ebiwaawaatiro ebitono bye walabye nga bimera ku biri ebinene, bitegeeza nti 20walisitukawo bakabaka munaana mu bwakabaka. Naye obuyinza bwabwe buliba bwa kaseera katono era nga si bukulu. 21Ababiri ku bo balijja ng'ebula katono okutuuka ku kiseera ekya wakati. Abana balijja ebula katono okutuuka ku nkomerero. Ababiri balisigalawo okutuusiza ddala ku nkomerero.
22‘‘Walabye emitwe esatu egyebase. Ekyo kitegeeza 23nti mu biseera by'obwakabaka ebirisembayo, Katonda Atenkanika alisitula bakabaka basatu, ne bazzaawo bingi mu bwakabaka, era ne bafuga ensi 24n'abantu baayo, mu bukambwe bungi okusinga obw'abafuzi abaabakulembera. Kyebava bayitibwa emitwe gy'empungu, 25kubanga bakabaka abo abasatu be balikola ebibi okumaliriza omulimu gw'empungu ogutaliimu Katonda. 26Walabye ng'omutwe ogusinga obunene gubula. Ekyo kitegeeza nti omu ku bakabaka alifiira mu kitanda kye mu bulumi bungi. 27Abalala ababiri balifiira mu lutalo. 28Omu ye alitta munne, ate naye alittibwa ku nkomerero.
29‘‘Walabye ebiwaawaatiro ebibiri nga bidda eri omutwe ogw'oku ludda olwa ddyo. 30Ekyo kitegeeza nti Katonda Atenkanika abiterese okutuusa ku nkomerero, naye obuyinza bwabyo nga bumpi nga bwe walabye.
31‘‘Walabye empologoma etaamye, eyavudde mu kibira ng'ewuluguma, era wawulidde bw'eyogera n'empungu ng'eginenya olw'ebibi bye yakola ne bye yayogera. 32Empologoma eyo ye Kristo, Katonda Atenkanika gw'akuuma okutuuka ku nkomerero. Aliba muzzukulu wa Dawudi, alijja n'ayogera n'abafuzi. Alibanenya olw'ebibi byabwe, olw'obwonoonyi bwabwe, n'olw'okunyooma Katonda.#Laba ne Dan 7:13-14 33Alibasalira omusango nga balamu. Aligusala ne gubasinga, n'abazikiriza. 34Alikwatirwa ekisa abantu bange abalala abasigaddewo, abawonyeewo mu nsi yange. Alibawa eddembe okutuusa olunaku olw'enkomerero lwe lulituuka: Lwe lw'okusalirako omusango, lwe nakutegeezaako okusooka.
35‘‘Ekyo kye kirooto kye waloose, era ago ge makulu gaakyo. 36Naye Katonda Atenkanika ggwe asiimye wekka okubikkulira ekyama ekyo. 37Kale byonna by'olabye biwandiike mu kitabo, obitereke mu kifo ekyekusifu. 38Ebyama bino biyigirize abamu ku bantu bo b'omanyi nga bagezi, abasobola okubitegeera n'okubikuuma nga bya kyama. 39Naye sigala wano ennaku endala musanvu, Katonda Atenkanika alyoke akubikkulire buli ky'anaayagala.” Awo malayika n'ava we ndi.
Abantu bajja eri Ezera
40Ennaku omusanvu bwe zaayitawo, abantu bonna abakulu n'abato ne bawulira nti nali sinnadda mu kibuga. Ne bajja gye ndi, ne baŋŋamba nti: 41‘‘Twakukola ki ekibi? Lwaki watuvaako n'ojja obeera mu kifo kino. 42Mu balanzi baffe ggwe osigaddewo wekka. Oli ng'ekirimba ky'emizabbibu ekimu ekikyasigadde mu nnimiro, oli ng'ettaala eyakira mu kifo eky'ekizikiza, oba ng'omwalo omulungi, eryato mwe liwonera omuyaga. 43Tetubonyeebonye ekimala? 44Ggwe okutulekawo, waakiri naffe twandifiiridde mu muliro ogwazikiriza Yerusaalemu, 45kubanga tetulina kalungi ke tusinza abo abaafiirayo.” Bonna ne batandika okutema emiranga.
46Ne mbaddamu nti: ‘‘Abayisirayeli, mugume, muleme kunakuwala. 47Katonda Atenkanika abajjukira, era tabeerabidde mu bizibu byammwe byonna. 48Nange sibaleseewo wadde okubaabulira. Naye nazze wano, okusabira Yerusaalemu ekiri mu buyinike, era n'okusaba Katonda akwatirwe ekisa Essinzizo lyammwe, eryamalibwamu ekitiibwa. 49Kale mwenna muddeeyo ewammwe, nja kujja gye muli mu nnaku ntono.”
50Awo abantu ne baddayo mu kibuga nga bwe nabagamba. 51Nze ne nsigala mu ttale okumala ennaku musanvu, nga malayika bwe yandagira, nga sirina kirala kye ndya, okuggyako ebimuli eby'omu ttale. Bye byafuuka emmere yange mu nnaku ezo.
OKULABIKIRWA OKW'OMUKAAGA

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 12: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in