1 ESIDERAASI 3
3
Ab'omu lubiri bawakana
1Kabaka Dariyo yakolera abantu be bonna b'atwala embaga ennene: ab'omu lubiri lwe, abaami abakulu mu Perusiya ne Mediya, 2ab'amasaza, abakulu mu magye, n'abakulembeze mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu, okuva e Buyindi okutuuka Etiyopiya. 3Bwe baamala okukkuta ebyokulya n'ebyokunywa, ne bagenda, ne Dariyo n'ayingira mu kisenge kye, ne yeebaka, kyokka n'asisimuka.
4Awo abavubuka basatu ab'omu baweereza ba kabaka ne bagambagana nti: 5“Buli omu ku ffe ayogere ky'alowooza nti kye kisinga ebirala byonna amaanyi ku nsi. Kabaka Dariyo ye aba atusalirawo asinzizza banne amagezi, amuwe ebirabo ebirungi era eby'omuwendo eby'obuwanguzi. 6Bamwambaze ng'omulangira, anywere ku kikopo ekya zaabu. 7Olw'amagezi ge ajja kuba muwi wa magezi owa kabaka, era aweebwe obukulu ayitibwenga ‘Muganda wa Kabaka.’ ”
8Awo buli omu n'awandiika kye yalowooza, n'akisibako, n'akiteeka wansi w'omutto gwa kabaka. Ne bagambagana nti: 9“Kabaka bw'anaazuukuka, banaamuwa ebiwandiiko ebyo. Ye n'abakungu abakulu basatu ab'omu Perusiya be banaasalawo ekisinga okuba eky'amagezi, omuwanguzi bamuwe ekirabo okusinziira ku ky'awandiise.”
10Omu yawandiika nti: “Tewali kisinza mwenge maanyi.” 11Owookubiri n'awandiika nti: “Kabaka ye asinga bonna amaanyi.” 12Owookusatu n'awandiika nti: “Tewali kisinga mukazi maanyi, naye amazima gawangula byonna.”
13Kabaka bwe yazuukuka, ne bamuwa bye bawandiise, n'abisoma. 14Awo n'atumya abakulembeze bonna mu Perusiya ne Mediya, omuli abakulu b'ebitundu, ab'amasaza n'abakulu mu magye. 15N'atuula mu ntebe ye mu kisenge eky'olukiiko, ne basoma ebiwandiiko biri ebisatu. 16N'agamba nti: “Muyite abavubuka abasatu, bannyonnyole bye bawandiise.” Bwe baabayita ne bayingira, 17ne babagamba nti: “Mutunnyonnyole bye mwawandiise.”
18Oyo eyawandiika nti omwenge gwe gusinga byonna amaanyi ye yasooka, n'agamba nti: “Bakama bange, ddala omwenge gwe gusinga ebintu byonna amaanyi ku nsi. Gutabulatabula amagezi ga buli omu agunywa, 19k'abe kabaka, oba enfuuzi, k'abe muddu oba ow'eddembe, k'abe mugagga oba mwavu. Bonna gubafuga kye kimu. 20Guleetera omuntu okusanyuka n'akyamuka, ne gumwerabiza obuyinike ne by'ateekwa okukola. 21Guleetera buli omu okwemanya obugagga, n'anyooma bakabaka n'abafuzi, n'ayogera ng'ali nga nnannyini nsi yonna. 22Abantu bwe banywa omwenge, beerabira mikwano gyabwe ne baliraanwa baabwe, ne basikayo ebitala okubalwanyisa. 23Oluvannyuma bwe gubaamukako, baba tebakyajjukira kye baakoze. 24N'olwekyo, bakama bange, oba ng'omwenge guleetera abantu okweyisa bwe batyo, ddala gwe gusinga ebirala byonna amaanyi.” Bw'atyo bwe yamaliriza.
Currently Selected:
1 ESIDERAASI 3: LBwD03
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.