Luk 9
9
1 #
Mat 10,1.5-14; Mar 6,7-13; Luk 10,1-12. Awo n'ayita Ekkumi n'Ababiri wamu n'abawa amaanyi n'obuyinza ku myoyo emibi gyonna era n'okuwonya endwadde. 2N'abatuma okuyigiriza obwakabaka bwa Katonda n'okuwonya. 3#Luk 10,4-11; Ebik 13,51.N'abagamba nti: “Temutwalanga kantu mu lugendo, newandibadde omuggo, newandibadde ensawo, newandibadde omugaati, newandibadde ffeeza, era temubeeranga na kkanzu bbiri. 4Buli nnyumba gye muyingiramu, mubeeranga omwo era wo we muvanga. 5Yonna gye bagaananga okubaaniriza, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe ng'obujulizi obubalumiriza.” 6Bo ne bagenda, ne bayitaayita mu bibuga nga bayigiriza Evangili n'okuwonya buli wantu.
Erode kye yali alowooza ku Yezu
7 #
Mat 16,14; Mar 8,28; Luk 9,19. Awo #Mat 14,1lud; Mar 6,14-16.Erode omufuzi atwala ekitundu n'awulira byonna ebyakolebwa, n'asoberwa, kubanga abamu baagambanga nti Yowanna Batista azuukidde mu bafu; 8n'abalala nti Eliya alabise, ate abandi nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde. 9Erode n'agamba nti: “Yowanna nze namutemako omutwe; ate oyo gwe mpulirako ebyenkana awo ye ani?” N'ayagala okumulaba.
Abatume badda
10 #
Mat 14,13-21; Mar 6,30-44; Yow 6,1-13. Awo abatume ne badda, ne bamunyumiza byonna bye baakola. Ye n'abatwala, n'ava awo nagenda ebbaliko yekka mu kibuga ekiyitibwa Betisayida. 11Naye abantu bwe baamanya, ne bamugoberera; n'abasanyukira, era n'ababuulira ku bwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya. 12Obudde bwe bwagenda buziba, Ekkumi n'Ababiri ne bamusemberera ne bagamba nti: “Abantu basiibule, bagende mu bibuga ne mu byalo ebyetoolodde basule eyo, bafune ne kye banaalya, kubanga wano we tuli kifo kyesudde.” 13Ye n'abagamba nti: “Mmwe mubawe kye banaalya.” Bo ne bamugamba nti: “Tetulina kirala, okuggyako emigaati etaano gyokka n'ebyennyanja bibiri; mpozzi tugende tugulire abantu bano bonna emmere.” 14Kubanga abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. N'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze ebibinja nga by'amakumi ataano kinna kimu.” 15Ne bakola batyo; ne babatuuza bonna. 16Awo n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, n'abimenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be babigabire abantu. 17Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebyalema, ebisero kkumi na bibiri eby'obutundutundu.
Okwatula kwa Petero
18 #
Mat 16,13-21; Mar 8,27-31. Olwatuuka, yali ali yekka nga yeegayirira, n'abayigirizwa be nga bali naye, n'ababuuza nti: “Abantu bagamba nze ani?” 19#Mat 14,1-2; Mar 6,14-15; Luk 9,7-8.Bo ne bayanukula ne bagamba nti: “Yowanna Batista, naye abalala nti Eliya, n'abandi nti omulanzi omu ku b'edda azuukidde.” 20#Yow 6,68-69.Awo n'abagamba nti: “Naye nga mmwe mugamba nze ani?” Petero n'ayanukula nti: “Kristu wa Katonda.” 21Naye ye n'abakuutira, n'abalagira ekyo obutakibuulirako muntu.
Yezu alanga ogusooka okubonaabona kwe
22N'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu yalina okubonyaabonyezebwa ebingi n'okwegaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olwokusatu.”
Okugoberera Yezu okutuufu
23 #
Mat 10,38; Luk 14,27. Awo bonna #Mat 16,24-28; Mar 8,34–9,1.n'abagamba nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe buli lukya, angoberere. 24#Mat 10,39; Luk 17,33; Yow 12,25.Kubanga buli alyagala okuwonya obulamu bwe, alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze, oyo alibuwonya. 25Kale omuntu kimugasa ki okulya ensi yonna, sso ye n'azaawa oba n'afiirwa? 26Kubanga buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, oyo Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijja mu kitiibwa kye n'ekya Taata n'ekya bamalayika abatuukirivu. 27Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye obwakabaka bwa Katonda.”
Yezu afuuka obulala
28 #
1 Pet 1,17-18. Oluvannyuma #Mat 17,1-9; Mar 9,2-8.lw'ebigambo bino nga wayise ennaku nga munaana, n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna, n'alinnya nabo ku lusozi okwegayirira. 29Bwe yali yeegayirira, enfaanana y'amaaso ge n'efuuka, ebyambalo bye ne byeruka, ne bimasamasa. 30Awo ne walabikawo abasajja babiri nga boogera naye; baali Musa ne Eliya; 31baalabikira mu kitiibwa; baali boogera ku kugenda kwe kwe yali agenda okutuukiriza mu Yeruzaalemu. 32Petero n'abaali naye otulo twali tubali bubi, naye baasigala batunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abasajja bali ababiri abaali bayimiridde naye. 33Awo bali bwe baali bava w'ali, Petero n'agamba Yezu nti: “Muyigiriza, kirungi ffe okubeera wano; ka tukole wano ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'ayogera. 34Yali akyayogera ebyo, ekire ne kijja, ne kibabuutikira; ne batya nga balaba bayingirira ekire. 35#Yis 42,1; Mat 3,17; 12,18; Mar 1,11; Luk 3,22.Awo eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulondemu wange,#9,35 Oba: Omwagalwa. mumuwulirenga.” 36Eddoboozi lyagenda okusirika, nga Yezu yekka y'aliwo. Bo ne basirika; mu nnaku ezo ebyo bye baalaba ne wataba gwe baabibuulirako.
Okuwonya ow'ensibu eyaliko omwoyo omubi
37 # Mat 17,14-21; Mar 9,14-29. Ku lunaku olwaddako, bwe baali baserengeta olusozi, ekibiina kinene ne kibasisinkana. 38Omusajja n'aleekaana okuva mu kibiina ng'agamba nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, tunuulira mutabani wange; ono ye muzaale yekka gwe nnina. 39Omwoyo gumukwata, amangu ago n'awowoggana; ne gumusambagaza, n'abimba ejjovu; gumuta na buwaze, ate gumumenyaamenya. 40Neegayiridde abayigirizwa bo bagugobe, ne batasobola.” 41Awo Yezu n'ayanukula, n'agamba nti: “Owa ezzadde lino eritakkiriza, eryonoonefu! Ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? Kale mutabani wo muleete wano.” 42Bwe yali asembera, omwoyo omubi ne gumutaagulataagula ne gumusambagaza. Naye Yezu n'akabukira omwoyo omugwagwa, omulenzi n'amuwonya, n'amuddiza kitaawe. 43#Mat 18,1-5; Mar 9,30-32.Abantu bonna ne beewuunya obukulu bwa Katonda.
Yezu addamu okulanga okubonaabona kwe
Bonna baali bakyewuunya byonna by'akola, 44n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebigambo bino biyingire mu matu gaamwe: kubanga Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu.” 45Bo ne batategeera kigambo ekyo; kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera; ate baali batya okumubuuza ku kigambo ekyo.
Obukulu
46 #
Luk 22,24. Awo enkaayana #Mat 18,1-5; Mar 9,33-37.ne zisituka mu bo ku ani asinga obukulu mu bo. 47Yezu bwe yalaba ebirowoozo ebyali mu mitima gyabwe, n'akwata omwana omuto, n'amuyimiriza ku lusegere lwe, 48#Mat 10,40; Luk 10,16; Yow 13,20.n'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana omuto ono, mu linnya lyange, aba ayanirizza nze; na buli annyaniriza, aba ayanirizza oli eyantuma. Kubanga asinga obutene mu mmwe mwenna, y'asinga obukulu.”
Okukozesa erinnya lya Yezu
49 #
Mar 9,38-41. Yowanna n'ayanukula nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi mu linnya lyo, ne tumuziyiza; kubanga yali tayita naffe.” 50Naye Yezu n'amugamba nti: “Muleke kumuziyiza; kubanga oyo atatuwakanya, aba ku ludda lwammwe.”
IV. OLUGENDO LW'E YERUZAALEMU
Abasamariya bagaana okusuza Yezu
51Olwatuuka, ennaku ez'okulinnyisibwa kwe bwe zaali ziri kumpi, amaaso ge n'agasimbira ddala ku kulaga e Yeruzaalemu. N'asindika ababaka bamukulemberemu. 52Ne bagenda, ne bayingira mu kyalo ky'Abasamariya bamutegekere. 53Naye abantu ne batamwaniriza kubanga amaaso ge yali agasimbye ku kulaga Yeruzaalemu. 54#2 Bak 1,10.Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanna, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?” 55Naye ye n'akyuka n'abakomako.#9,55 Ez'edda zongerako: n'agamba nti: “Temumanyi mwoyo gubaliko; Omwana w'Omuntu teyajja kuzikiriza bulamu bwa bantu, wabula okubuwonya.” 56Ne bagenda mu kibuga ekirala.
Abaayagala okuyita ne Yezu
57Bwe baali batambula mu kkubo, ne wajjawo amugamba nti: “Nzija kukugobereranga yonna gy'onoogendanga.” 58Yezu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya n'ebinyonyi eby'omu bbanga birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'awunzika mutwe.” 59Ate n'agamba omulala nti: “Ngoberera.” Naye ye n'agamba nti: “Mukama, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” 60N'amugamba nti: “Leka abafu baziike abafu baabwe; ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.” 61#1 Bak 19,20.Omulala n'agamba nti: “Ssebo, nzija kukugoberera; kyokka, nzikiriza ŋŋende nsiibule ab'eka.” 62Yezu n'amugamba nti: “Mpaawo oyo akwata ku nkumbi erima n'akebuka mabega asaanidde bwakabaka bwa Katonda.”
Abayigirizwa nsanvu mu babiri batumibwa
Currently Selected:
Luk 9: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.