Luk 4:5-8
Luk 4:5-8 BIBU1
Sitaani n'amutwala waggulu, n'amwoleka amawanga gonna ag'ensi mu kabanga bubanga. Sitaani n'amugamba nti: “Obuyinza bwonna n'ekitiibwa kyago nnaabikuwa, kubanga byampeebwa, gwe njagala gwe mbiwa. Kale nno ggwe omala onsinza, ebyo byonna binaaba bibyo.” Yezu n'ayanukula nti: “Kyawandiikibwa nti: “ ‘Osinzanga Omukama Katonda wo, era yekka gw'oweerezanga.’ ”