Luk 14:28-30
Luk 14:28-30 BIBU1
“Ani mu mmwe ng'ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira muwendo oguligendako alabe oba alina eby'okugumaliriza? Sikulwa ng'amala okuyiwa omusingi, n'alemwa okumaliriza; bonna abagulaba ne bamusekerera, nga bagamba nti: ‘Omuntu nno yatandika okuzimba, n'atayinza kumaliriza.’