Yow OKWANJULA EKITABO
OKWANJULA EKITABO
Ebyafaayo by'Ekitabo: Ekitabo ky'Evangili ya Mukama waffe Yezu Kristu nga bwe yawandiikibwa Yowanna kyawandiikibwa mu bbanga ly'emyaka AD 90 ne 100. Kyawandiikibwa Yowanna Omutume (3,11; 21,24-25). Naye oluusi omuwandiisi alabika ng'asukka mu omu (3,11). Kino kiyinza okulaga nti Evangili eno teyawandiikibwa Yowanna yekka, wabula n'abagoberezi be bajja bagitereeza okutuusa ku bbala we twagifunira. Ekifo we yasibuka kitankanibwa, abamu bawa Efezi, abalala Antiyokiya ekya Siriya, ate n'abandi Alekisanduriya.
Entereeza y'ekitabo: Evangili ya Yowanna eyawukana ku Vangili ziri ezisooka essatu. Yowanna yeeyambisa nnyo obubonero, era n'olulimi lw'akozesa lwa kikugu, era n'ensengeka y'Evangili ye njawufu ku ziri, era n'ebyafaayo ebizirimu ye abyogerako bulala. Yowanna atandika Evangili ye n'ennyanjula empanvu ddala era nga muno mw'alagira n'emiramwa emikulu egiwerera ddala (1,1-18). Efundikira emirundi ebiri (20,30-31 ne 21,24-25). Ekitundu ekikulu kyennyini eky'Evangili (1,19–20,31) kyawulibwamu ebitundu bibiri: I. Ekitabo ky'obubonero (1,19–12,50): omuli obubonero (ebyewuunyo) n'enjigiriza Yezu mwe yeeyolekera nga ye nnannyini bulamu mu bubonero obw'amazzi, omugaati, omusumba, omulyango gw'endiga, ekkubo, amazima, ekitangaala, omuzabbibu n'okuzuukira. II. Ekitabo ky'ekitiibwa kya Yezu (13,1–20,31): omuli enjigiriza n'ebisembayo mu bulamu bwa Yezu omwolekerwa ekitiibwa kye n'ekya Kitaawe, ng'entikko eri mu kufa ne mu kuzuukira.
Enjigiriza y'ekitabo: Ekigendererwa ky'Evangili ya Yowanna kwe kukubiriza abakristu okweyongera okukkiriza n'obutava ku Kristu balyoke bafune obulamu (20,31). Awo nno nga yeeyamba obubonero (ebyewuunyo) n'ebifaananyi mu ngero ne mu njigiriza ze, Yowanna agezaako okumatiza nti Kigambo eyafuuka omuntu ye Kristu (Omusiige), Omwana wa Katonda, Kabaka wa Yisirayeli, era Omwana w'Omuntu, kye kigambo ekirina obulamu, kye kitangaala ky'ensi, gwe mugaati ogw'obulamu, amazzi ag'obulamu, omusumba omulungi era omulyango gw'endiga mwe ziyita okutuuka ku bulamu, kwe kuzuukira, lye kkubo, ge mazima, mu kufunza byonna, Yezu Kristu bwe bulamu. Amwaniriza n'amukkiriza afuna obulamu era afuuka mwana wa Katonda; amugaana azikirira. Yezu ono yajja okuteekawo obulamu obuggya (kino kiri mu kabonero k'e Kana, 2,1-11), n'okutuusa abantu ku kwebonanyizibwa mu kitiibwa kya Katonda. Kino akikola ng'abonaabona n'afa, n'azuukira alyoke abawe Mwoyo w'obulamu mwe bayita okufuna obulamu mu Batismu, Wukaristiya n'okusonyiyibwa ebibi (3,6; 6,53-63; 20,23). Yalekawo Ekleziya ejulire ekigambo kino, etuuse n'amasakramentu ku bantu (20,21-23; 21,15-18) okutuusa lw'alidda.
Omugaso gw'Ekitabo mu nsangi zino: Evangili ya Yowanna egasa nnyo mu kunnyonnyola ekyama kya Yezu Kristu Omwana wa Katonda, ekyama ky'okwefuula omuntu okw'Omwana wa Katonda, amakulu g'ekigambo ky'ayigiriza, n'amakulu g'amasakramentu (newandibadde nga go tegoogerako butereevu), naddala Batismu (okuzaalibwa ogwokubiri), Wukaristiya n'Okusonyiwa ebibi, era n'omugaso n'omulimu gwa Mwoyo Mutuukirivu ne Trinita Omutuukirivu. Evangili eno era eyamba okulaga omukkiriza bw'ayungaganye ne Katonda Taata, Mwana ne Mwoyo Mutuukirivu. Etukubiriza okutambulira mu bulamu bwa ngeri ssatu: obw'okukkiriza ekigambo kya Katonda, obw'okwagala n'obw'amasakramentu.
YOWANNA
Currently Selected:
Yow OKWANJULA EKITABO: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.