Amas 38
38
1Mu budde obwo Yuda n'aleka baganda be n'aserengeta, n'agenda abeera ew'omusajja Omwadullamu ayitibwa Kira. 2Eyo Yuda yalabayo omuwala, muwala wa Suwa Omukanaani, n'amuwasa, ne yeebaka naye. 3Yabeera olubuto n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma Eri. 4Yaddamu n'aba olubuto, n'azaala era omwana mulenzi, n'amutuuma Onani. 5Yayongera n'azaala omulenzi omulala, n'amutuuma Sela. We yamuzaalira, Yuda yali abeera Kezibu.
6Yuda yafunira Eri, omuggulanda we, omukazi erinnya lye Tamari. 7Naye Eri omuggulanda wa Yuda yali mubi mu maaso ga Katonda, Katonda n'amutta. 8#Et 25,5-10.Yuda kwe kugamba Onani nti: “Weebake ne muka muganda wo otuukirize obuvunaanyizibwa gy'ali obw'okusitusiza muganda wo ezzadde.” 9Naye Onani bwe yamanya nti ezzadde teriibe lirye, bwe yeebakanga ne mulamu we, amazzi ng'agayiwa ku ttaka, aleme kufunira muganda we mwana. 10Kye yakola kyali kibi mu maaso g'Omukama, Omukama naye n'amutta. 11Olw'okubeera ekyo, Yuda yagamba Tamari mukaamwana nti: “Genda omalire obwannamwandu mu nnyumba ya kitaawo okutuusa mutabani wange Sela lw'anaakula.” Kubanga yali atya nti: “Sikulwa nga naye afa nga baganda be.” Ne Tamari n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.
12Ebbanga nga liyiseewo ddene, muwala wa Suwa, muka Yuda, n'afa. Ennaku ez'okukubagizibwa bwe zaggwa, Yuda n'ayambuka e Timuna ne mukwano gwe Kira Omwadullamu okulaba abamwa endiga ebyoya. 13Tamari bwe baamubuulira nti: “Ssezaala wo wuuyo ayambuka e Timuna okumwa endiga ebyoya,” 14n'ayambulamu eby'obwannamwandu, ne yeebikka ekiremba okwefuulafuula, n'atuula ku mulyango oguyingira mu Enayimu ku kkubo erigenda e Timuna, kubanga yalaba nga Sela yali akuze naye nga tamumuweereddwa nga mukazi we.
15Yuda bwe yamulaba, n'ateebereza nti mukazi malaaya, kubanga yali yeebisse mu maaso. 16N'akyama we yali ku kkubo n'amugamba nti: “Owange, gira neebakako naawe.” Yali tamanyi nti ye mukaamwana. Ye n'amwanukula nti: “Okwebaka naawe onompa ki?” 17N'agamba nti: “Nzija kukuweereza akabuzi okuva mu ggana lyange.” Tamari n'amubuuza nti: “Musingo ki gw'onondekera okutuusa ng'oguweerezza?” 18Yuda n'agamba nti: “Kiki ky'oyagala nkuwe ng'omusingo?” N'ayanukula nti: “Empeta y'akabonero ko, ko ekimyu kyo, n'omuggo gw'okutte mu ngalo.” N'abimuwa. Ne yeebaka naye, omukazi n'aba olubuto lwe. 19N'asituka n'agenda, n'aggyako ekiremba, n'addamu n'ayambala eby'obwannamwandu.
20Yuda n'amuweereza akabuzi ng'atuma mukwano gwe Omwadullamu, aggye ku mukazi omusingo gwe, kyokka n'amubulwa. 21N'abuuza abantu b'omu kifo ekyo nti: “Omuzaana w'omu kiggwa#38,21 Omuzaana w'omu kiggwa: Mu Bakanaani yali mukazi omusiige mu kiggwa ku lw'emikolo egyefaananyirizaako egy'obufumbo egyakolerwangayo. eyabadde atudde ku kkubo Enayimu ali ludda wa?” Ne baanukula nti: “Mu kifo kino temunnabaamu muzaana wa mu kiggwa.” 22N'addayo eri Yuda n'amugamba nti: “Simusanzeeyo. N'abantu ab'omu kifo ekyo baŋŋambye nti: ‘Eyo tewatuulangayo muzaana wa mu kiggwa.’ ” 23Yuda n'agamba nti: “Kale asigaze by'alina, sikulwa nga tufuuka eky'okusekerera. Kasita mmuweerezza akabuzi kano, newandibadde nga ggwe tomusanzeeyo.”
24 #
Abal 21,8; Et 22,23; Yow 8,5. Nga wayise emyezi esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamari mukaamwana yakola obwamalaaya era wuuno ali lubuto.” Yuda n'agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe omuliro.” 25Bwe baali bamufulumya, n'atumya ewa ssezaala we ng'agamba nti: “Ndi lubuto lw'oyo nnannyini bintu bino. Weetegereze olabe oba oyinza okumanya nnannyini mpeta eno, n'ekimyu n'omuggo.” 26N'abitegeera n'agamba nti: “Mutuufu okunsinga, kubanga samuwaayo eri Sela mutabani wange.”#38,26 Tamari kye yakola yali agoba bwenkanya, era kyamuviiramu okuba omu ku bakazi abazira mu Yisirayeli. Laba Emiw 27,21; Ruus 4,12; 2 Ebyaf 2,3; Mat 1,3 ne Luk 3,33. Kyokka teyaddayo kwebaka naye.
27Okuzaala kwali kunaatera, n'asangibwa ng'alina abalongo mu lubuto. 28Mu kuzaalibwa omwana omu n'afulumya omukono, omuzaalisa n'asibako wuzi entwakaavu ng'agamba nti: “Ono y'asoose okufuluma.” 29Naye n'azzaayo omukono, ate muganda we n'afuluma; omuzaalisa n'agamba nti: “Bw'otyo bw'owagaanyizza n'owaguza?” Olw'okubeera ekyo n'ayitibwa Perezi.#38,29 Perezi kitegeeza kuwaguza. 30Oluvannyuma muganda we n'afuluma eyalina wuzi entwakaavu ku mukono; ye n'ayitibwa Zeraki.#38,30 Zeraki amakulu kimyufu oba kitwakaavu.
Yozefu mu Misiri
Currently Selected:
Amas 38: BIBU1
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.