YouVersion Logo
Search Icon

Amas 36

36
1Gano ge mazadde ga Ezawu oba Edomu. 2#26,34; 28,9.Ezawu bakazi be yabaggyanga mu bakazi Abakanaani: Ada muwala wa Eloni Omukitti ne Olibama muwala wa Ana muzzukulu wa Zibewoni Omukivi, 3#28,9.ne Basemati muwala wa Yisimayeli mwannyina Nebayoti. 4Ada yazaalira Ezawu Elifazi, ne Basemati n'azaala Reweli; 5Olibama yazaala Yewusi, Yalamu ne Kora. Abo be batabani ba Ezawu abamuzaalirwa mu nsi Kanaani.
6Ezawu yatwala bakazi be, batabani be, bawala be, ne bonna ab'omu nnyumba ye, n'amagana n'ebisolo by'awaka, na byonna bye yali afunidde mu nsi Kanaani, n'asengukira mu nsi eyeesuddeko okuva ku muganda we Yakobo. 7Olw'obugagga obungi bwe baalina, nga tebakyasobola kubeera wamu; ensi mwe baali nga tebamala olw'obungi bw'amagana. 8Ezawu n'asenga mu nsozi z'e Seyiri. Ezawu era ye Edomu.
9Gano ge mazadde ga Ezawu kitaawe w'Abeedomu mu nsozi z'e Seyiri:
10 # 36,15-19; 1 Ebyaf 1,35. Gano ge mannya ga batabani ba Ezawu: Elifazi mutabani wa Ada muka Ezawu, ssaako Reweli mutabani wa Basemati muka Ezawu.
11Batabani ba Elifazi baali: Teemani, Omari, Zefo, Gatamu ne Kenazi. 12Timuna yali mukazi omuzaana owa Elifazi mutabani wa Ezawu, eyazaalira Elifazi Amaleki. Abo be bazzukulu ba Ada muka Ezawu.
13Batabani ba Reweli be bano: Nakati, Zeraki, Samma ne Mizza: bano be bazzukulu ba Basemati muka Ezawu.
14Bano be batabani ba Olibama muwala wa Ana muzzukulu wa Zibewoni muka Ezawu, be yamuzaalira: Yewusi, Yalamu ne Kora.
Abaami mu Edomu
15 # 36,10-14. Bano be baami b'abantu abaasibuka mu Ezawu. Ezzadde lye mu Elifazi mutabani wa Ezawu omuggulanda: omwami Teemani, omwami Omari, omwami Zefo, omwami Kenazi, 16omwami Kora, omwami Gatamu, n'omwami Amaleki. Bano be baami ba Elifazi mu Edomu, era bano be bazzukulu ba Ada.
17Bano be batabani ba Reweli mutabani wa Ezawu: omwami Nakati, omwami Zeraki, omwami Samma, omwami Mizza. Abo be baami ba Reweli mu Edomu era be batabani ba Basemati muka Ezawu.
18Bano be batabani ba Olibama muka Ezawu: omwami Yewusi, omwami Yalamu, omwami Kora. Abo be baami ba Olibama muka Ezawu muwala wa Ana.
19Abo be batabani ba Ezawu n'abaami baabwe. Ezawu ye Edomu.
Ezzadde lya Seyiri
20 # 1 Ebyaf 1,38-42. Bano be batabani ba Seyiri Omukori abaalinga mu nsi: Lotani, Sobali, Zibewoni, Ana, 21Disoni, Ezeri ne Disani. Be baami b'Abakori abasibuka mu Seyiri ow'omu Edomu. 22Kori ne Emamu be baali batabani ba Lotani; mwannyina Lotani nga ye Timuna. 23Bano be batabani ba Sobali: Aluvani, Manakati, Ebali, Sefo ne Onamu. 24Bano be batabani ba Zibewoni: Aya ne Ana. Ana ono ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya bwe yali alunda endogoyi za kitaawe Zibewoni. 25Bano be baana ba Ana: Disoni ne muwala we Olibama. 26Bano be batabani ba Disoni: Kemudani, Esubani, Yituraani, Kerani. 27Bano be batabani ba Ezeri: Biluwani, Zaavani ne Akani. 28Bano be batabani ba Disani: Wuzi ne Arani.
29Bano be baami b'Abakori: omwami Lotani, omwami Sobali, omwami Zibewoni, omwami Ana, 30n'omwami Disoni n'omwami Ezeri n'omwami Disani. Abo be baami b'Abakori mu bitundu byabwe mu nsi y'e Seyiri.
Bakabaka b'e Edomu
31 # 1 Ebyaf 1,43-53. Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu, nga bakabaka ba Abayisirayeli tebanabafuga: 32Bela mutabani wa Bewori yali kabaka mu Edomu; ekibuga kye nga kiyitibwa Dinuwaba. 33Bela bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeraki ow'e Bozura n'amusikira ku bwakabaka. 34Yobabu bwe yafa, Kusamu ava mu Bateemani n'amusikira ku bwakabaka. 35Kusamu bwe yafa, Adadi mutabani wa Bedadi n'amusikira ku bwakabaka; yawangula Midiyaani mu nsi y'e Mowabu; ekibuga kye nga kiyitibwa Aviti. 36Adadi bwe yafa, Samula ow'e Masureka n'amusikira ku bwakabaka. 37Samula bwe yafa, Sawulo ow'e Rekoboti ku mugga n'amusikira ku bwakabaka. 38Sawulo bwe yafa, Baali-Kanaani mutabani wa Akubori n'amusikira ku bwakabaka. 39Baali-Kanaani mutabani wa Akubori bwe yafa, Adari n'amusikira ku bwakabaka; ekibuga kye nga kiyitibwa Pawu; mukazi we ng'ayitibwa Meetabeli muwala wa Maturedi muwala wa Me-Zawabu.
40 # 1 Ebyaf 1,51-54. Gano ge mannya g'abaami ba Ezawu mu ndyo zaabwe n'ebitundu n'amannya gaabyo: omwami Timuna, omwami Aluva, omwami Yeteti, 41omwami Olibama, omwami Ela, omwami Pinoni, 42omwami Kenazi, omwami Teemani, omwami Mibuzari, 43omwami Magudyeli, n'omwami Yiramu. Abo be baami ba Edomu okusinziira ku gye baabeeranga n'ebitundu bye baali beekomezza. Ezawu ye yasibukamu Abeedomu.

Currently Selected:

Amas 36: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in