Amas 34
34
1Olwatuuka, Dina, muwala wa Leya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda akyalire abawala b'omu kitundu ekyo. 2Sekemu mutabani wa Kamori Omukivi, eyali afuga ensi eyo, n'amulaba, n'amukwata, ne yeebaka naye, n'amusobyako. 3Omutima gwa Sekemu ne gwesibira ku Dina muwala wa Yakobo; n'amwagala, n'ayogeranga naye na ggwoowo. 4N'agamba Kamori kitaawe nti: “Nfunira omuwala oyo abeere mukazi wange.” 5Yakobo bwe yawulira nti yagwagwawaza Dina muwala we, batabani be tebaaliwo, baali ku ttale n'amagana, n'asirika okutuusa lwe baakomawo.
6Kamori kitaawe wa Sekemu n'agenda okuteesa ne Yakobo; 7batabani ba Yakobo baali baakakomawo okuva ku ttale, bwe baawulira ekyali kiguddewo, ne banyolwa, ne basunguwala nnyo okulaba nga Sekemu yali akoze eky'obugwagwa kityo ku Yisirayeli, okwebaka ne muwala wa Yakobo, ekintu ekizira okukola. 8Kamori n'abagamba nti: “Omwoyo gwa Sekemu mutabani wange guggweeredde ku muwala wammwe; mbeegayiridde mumumuwe abeere mukazi we; 9ka tuwasaŋŋane; mutuwe bawala bammwe, nammwe mutwale bawala baffe; 10musenge mu ffe, ensi yiiyo ebali awo mu maaso; musuubulire omwo, mwefunire omwo eby'obugagga.” 11Ne Sekemu n'agamba kitaawe w'omuwala ne bannyina nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nzija kukiwa. 12Omutwalo musale munene gutya, n'ebirabo bingi nga bwe mwagala, nzija kubiwa, ekikulu mumpe omuwala ono abeere mukazi wange.”
13Batabani ba Yakobo ne baanukula Sekemu ne Kamori kitaawe nga balimbalimba, kubanga yali agwagwawazza Dina mwannyinaabwe, 14#17,10-14.ne babagamba nti: “Tetusobola kukola kye musaba: okuwa mwannyinaffe omusajja atali mutayirire, ffe kitwenyinyaza. 15Tusobola okukkiriza kye musaba, singa munaafaanana nga ffe: buli musajja yenna mu mmwe n'atayirirwa; 16olwo tunaabawa bawala baffe naffe ne tutwala bawala bammwe; tunaasenga mu mmwe, ne tubeera eggwanga limu. 17Naye bwe mutaasembe kya kutayirirwa, tujja kutwala muwala waffe, tugende.” 18Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamori ne Sekemu mutabani we. 19Omuvubuka teyalonzalonza kutuukiriza kimusabiddwa anti nga muwala wa Yakobo amusanyusa, ate naye yali muvubuka asinga okussibwamu ekitiibwa mu nnyumba ya kitaawe.
20Kamori ne Sekemu mutabani we ne bagenda ku mulyango gw'ekibuga ne bagamba abasajja b'ekibuga kyabwe nti: 21“Abasajja bano bakolagana bulungi naffe; katubaleke basenge mu nsi, basuubulire omwo, ensi yiino ngazi ekimala; bajja kuwasa bawala baffe, naffe tuwase abaabwe. 22Kyokka abasajja bano okusobola okukkiriza okusigala naffe tufuuke ggwanga limu, batwagaza abasajja bonna okutayirirwa nga bo bwe bakola. 23Olwo amagana, ebintu byabwe n'ebisolo byabwe byonna eby'awaka tebiifuuke byaffe? Tukkirize kye bagambye, basenge mu ffe.” 24Bannansi b'omu kibuga bonna ne basemba ekiteeso kya Kamori ne mutabani we Sekemu; abasajja bonna ab'omu kibuga ne batayirirwa.
Simewoni ne Leevi bawoolera eggwanga
25 #
49,5-6. Naye ku lunaku olwokusatu, bwe baali nga balumizibwa, batabani ba Yakobo Simewoni ne Leevi bannyina Dina, ne bakwata ebitala, ne bayingira mirembe mu kibuga, ne batta abasajja bonna. 26Kamori ne mutabani we Sekemu nabo ne babassa ebitala; Dina mwannyinaabwe ne bamuggyayo mu nnyumba ya Sekemu, ne bagenda. 27Batabani ba Yakobo ne bagwa ku mirambo gy'abattibwa, ekibuga ne bakyaya okuwoolera eggwanga olwa mwannyinaabwe eyagwagwawazibwa. 28Ne batwala endiga zaabwe, ente, n'endogoyi, na byonna ebyali mu kibuga ne mu nnimiro. 29Buli kya bugagga ne bakitwala, n'abaana n'abakazi; ne bazikiriza byonna ebyali mu mayumba.
30 #
13,7. Yakobo n'agamba Simewoni ne Leevi nti: “Mukansombedde okunfuula ekyenyinyalwa eri Abakanaani n'Abaperizzi abali mu nsi eno. Ffe tuli batono, bali bwe baneekuŋŋaanya okunnumba, bajja kunzita, bansaanyeewo n'ennyumba yange.” 31Bo ne baanukula nti: “Bandimaze gayisa mwannyinaffe nga malaaya?”
Yakobo e Beteli
Currently Selected:
Amas 34: BIBU1
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.