YouVersion Logo
Search Icon

Amas 23

23
1Saara yawangaala n'atuuka ku myaka kikumi mu abiri mu musanvu, 2n'afiira e Kiriyati-Aruba oba Keburoni, mu Kanaani. Yiburayimu n'agenda okukungubagira Saara n'okumukaabira. 3Yiburayimu yaleka wali omufu we, n'agenda agamba Abakitti nti: 4“Ndi munnaggwanga era omugwira mu mmwe; mumpe akafo mu mmwe kabeere obutaka bwange obw'okuziikangamu, nziikewo omufu wange.” 5Abakitti ne baanukula nti: 6“Ssebo, tuwulirize, oli mulangira omukulu mu ffe, weeroboze entaana esingira ddala obulungi mu zaffe zonna oziike omwo omufu wo; mpaawo anaakuziyiza kuziika mufu wo mu ntaana ye.”
7Yiburayimu n'avunnamira bannansi b'ensi eyo, Abakitti, 8n'abagamba nti: “Oba munzikiriza nziike omufu wange, kale mumpulirize, munsabire Efuroni mutabani wa Zokari 9ampe empuku ye e Makupela, eri ku nnimiro ye gy'ekoma, aginguze ku muwendo ogugigyamu, ebeere obutaka bwange mu mmwe obw'okuziikangamu.” 10Efuroni Omukitti yali atudde awo mu Bakitti banne, n'amwanukula nga ne Bakitti banne abaali bazze ku mulyango gw'ekibuga kye bawulira, nti: 11“Nedda, ssebo; mpuliriza, ennimiro ngikuwadde buwi, n'empuku erimu ngikuwadde buwi; mbikuwadde nga Bakitti bannange balaba; ziika omufu wo.”
12Yiburayimu n'avunnamira bannansi b'ensi eyo, 13n'addamu Efuroni ab'eggwanga lye nga bawulira nti: “Nkwegayiridde, mpuliriza; nzija kukuwa ssente ez'ennimiro; zitwale, nsobole okuziikamu omufu wange.” 14Efuroni n'ayanukula Yiburayimu nti: 15“Ssebo, mpuliriza; ettaka ligyamu sekeri eza ffeeza ebikumi bina.#23,15 Ze kiloguraamu nga 4.5 eza ffeeza. Ekyo kye ki ku nze naawe? Ziika mufu wo.” 16Yiburayimu n'ategereza Efuroni, n'apima ssente Efuroni ze yali asabye, nga Bakitti banne balaba, sekeri eza ffeeza ebikumi bina, ng'emiwendo bwe gyali mu basuubuzi.
17Ennimiro ya Efuroni eyali mu Makupela kumpi ne Mamure, yo yennyini n'empuku egirimu n'emiti gyamu gyonna, n'ensalo zaayo zonna ne bikakasibwa 18nti bya Yiburayimu, Abakitti abaali bazze ku mulyango gw'ekibuga nga nabo balaba. 19Oluvannyuma Yiburayimu n'aziika mukazi we Saara mu mpuku y'omu nnimiro y'e Makupela, okumpi ne Mamure, oba Keburoni, mu Kanaani. 20Abakitti ne bakakasa nti ennimiro n'empuku eyalimu bya Yiburayimu, butaka bwe bwa kuziikangamu.
Yizaake bamunoonyeza omukazi

Currently Selected:

Amas 23: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in