Amas 14
14
1Mu mirembe gya Amurafeli kabaka w'e Sinari, Ariyoki kabaka we Ellasari, Kedorulawomeri kabaka we Elamu, ne Tidali kabaka w'e Goyimu 2baggulawo olutalo ku Bera kabaka w'e Sodoma, Birusa kabaka we Gomorra, Sinabu kabaka w'e Aduma, Semeberi kabaka we Zeboyimu, ssaako kabaka w'e Bela, kwe kugamba Zowari. 3Bonna abo abasembyeyo beekuŋŋaanya mu kiwonvu Siddimu, kati awali Ennyanja y'Omunnyo. 4Baali bamaze emyaka kkumi n'ebiri nga baweereza Kedorulawomeri, naye mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ne bajeema. 5Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena Kedorulawomeri ne bakabaka abaali naye ne batta Abarefayi mu Asuteroti Karunayimu, n'Abazuzi mu Amu, n'Abeemi mu museetwe gw'e Save Kiriyatayimu, 6n'Abaakori mu nsozi zaabwe Seyiri; ne babagoba ne babatuusiza ddala e Eli-Parani ku nsalo y'eddungu. 7Ne bakomawo ne bajja e Eni-Misupati, kwe kugamba e Kadesi. Ne bawangula ekitundu kyonna eky'Abaamaleki, gattako Abaamori, ab'omu Kazazoni-Tamari. 8Kabaka w'e Sodoma ne kabaka w'e Gomorra, ne kabaka we Aduma, ne kabaka w'e Zeboyimu, ssaako ne kabaka w'e Bela, ye Zowari, ne bavaayo, ne bataza eggye mu kiwonvu Siddimu 9okulwanyisa Kedorulawomeri kabaka wa Elamu ne Tidali kabaka wa Goyimu ne Amurafeli kabaka w'e Sinari ne Ariyoki kabaka wa Ellasari; bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. 10Ekiwonvu Siddimu kyalimu ebirombe bingi eby'ebbumba. Kabaka w'e Sodoma ne Gomorra ne badduka, ne bagwa omwo; abaali basigaddewo ne baddukira ku lusozi. 11Abawanguzi ne batwala byonna eby'e Sodoma ne Gomorra n'emmere yaabwe yonna, ne bagenda.
12Baawamba ne Loti, oyo mutabani wa muganda wa Aburaamu eyabeeranga e Sodoma, n'ebibye byonna, ne bagenda. 13#13,18.Kaawonawo omu n'ajja, n'abuulira Aburaamu Omwebureeyi eyali abeera ku muvule omunene ogwa Mamure Omwamori, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; kubanga bano baali ba mukago ne Aburaamu. 14Aburaamu bwe yawulira nti Loti muganda we muwambe, n'ayungula abasajja be abatendeke n'ennyumba ye awamu ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, n'awondera okutuuka e Daani. 15Ekiro ekyo basajja be n'abaawuzaamu balumbe. Abalabe n'abakuba, n'abawondera okutuuka e Koba, mu mambuka ga Damasiko; 16n'akomyawo ebintu byonna, Loti muganda we, ebibye, abakazi n'abantu abalala.
Melekisedeki
17 #
Abeeb 7,1-10. Aburaamu bwe yakomawo ng'amaze okuwangula Kedorulawomeri ne bakabaka abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu kiwonvu ky'e Save, ekitegeeza Ekiwonvu kya Kabaka. 18Melekisedeki kabaka w'e Saalemu n'aggyayo omugaati n'evviini; yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ddala. 19N'amuwa omukisa n'agamba nti:
“Aburaamu aweebwe omukisa Katonda Ali Waggulu Ddala
Omutonzi w'eggulu n'ensi.
20Ne Katonda Ali Waggulu Ddala atenderezebwe
eyawaddeyo mu mikono gyo abalabe bo.”
Aburaamu n'amuwa ekyekkumi ku byonna. 21Kabaka w'e Sodoma n'agamba Aburaamu nti: “Mpa abantu; ebintu weetwalire.” 22Naye Aburaamu n'ayanukula kabaka w'e Sodoma nti: “Ngoloredde omukono gwange eri Omukama Katonda Ali Waggulu Ddala, Omutonzi w'eggulu n'ensi, 23siitwale kantu ku bibyo, wadde wuzi eti oba olukoba lw'engatto, oleme kugamba nti: ‘Nze nagaggawaza Aburaamu.’ 24Nze sijja kufuna kantu okuggyako ebyo abalenzi bye baalya, n'omugabo gw'abasajja abajja nange: Aneri, Esukoli ne Mamure. Abo bo bafune omugabo gwabwe.”
Ekisuubizo n'endagaano
Currently Selected:
Amas 14: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.