YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 12

12
1Mu budde obwo, kabaka Erode n'akwata abamu mu Ekleziya, n'ababonyaabonya. 2N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yowanna. 3Bwe yalaba nga kisanyusizza Abayudaaya, n'agenda mu maaso akwate ne Petero. Kyokka ennaku ezo nga za Migaati Egitazimbulukuse. 4#Okuv 12,1-27.Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amukwasa emigigi ena egy'abaserikale kinnabana okumukuuma, ng'ayagala okumuleeta mu maaso g'ekibiina nga Pasika ewedde. 5Petero ne bamukuumira bwe batyo mu kkomera. Yo Ekleziya ne yeegayirira lutata Katonda ku lulwe.
Malayika atema Petero mu nvuba
6Ekiro ekyo kyennyini Erode lw'agenda okumuggyayo, Petero yali yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa enjegere bbiri, n'abakuumi ku luggi nga bakuuma ekkomera, 7malayika w'Omukama n'alabika, ekitangaala ne kibuna ekkomera, n'akuba Petero ku lukugunyu, n'amuzuukusa, n'agamba nti: “Situka mangu.” Awo enjegere ne zigwa okuva ku mikono gye. 8Malayika n'amugamba nti: “Weesibe, onaanike n'engatto zo.” Naye n'akola atyo. Era n'amugamba nti: “Suulira omunagiro gwo ongoberere.” 9N'afuluma n'amugoberera; naye n'atategeera nti malayika kye yali akola kyali bwe kiri; yali alowooza nti alabikiddwa. 10Bwe baayita ku mugigi ogw'abakuumi ogusooka n'ogwokubiri, ne batuuka ku luggi olw'ekyuma olutwala mu kibuga, nalwo ne lubeggulirawo lwokka. Ne bafuluma ne batambulako akabanga mu luguudo; amangu ago Malayika n'amuleka. 11Petero bwe yeddamu, n'agamba nti: “Kaakano ntegeeredde ddala ng'Omukama atumye malayika we n'anzigya mu mikono gya Erode ne mu ekyo Abayudaaya bonna kye babadde balinda.”
12Kino bwe yakitegeera, n'agenda ku nnyumba ya Mariya, nnyina wa Yowanna, era ayitibwa Mariko, abangi gye baali bakuŋŋaanidde nga beegayirira. 13Bwe yakonkona ku luggi olw'emiryango, omuwala, erinnya lye Roda, n'ajja ayanukule. 14Olwategeera ng'eddoboozi lya Petero, olw'essanyu n'oluggi teyaluggulawo, wabula yadduka buddusi n'addayo munda, n'ategeeza nti Petero y'ali ku luggi. 15Bonna ne bamugamba nti “Olaluse?” Ye n'akalambira nti bwe kiri. Bo ne bagamba nti: “Oyo malayika we.” 16Petero ye n'ayongera okukonkona. Bwe baggulawo, ne bamulaba, ne bawuniikirira. 17Ye n'abawenyaako n'omukono basirike; n'abanyumiza Omukama nga bw'amuggye mu kkomera; n'abagamba nti: “Bino mubibuulire Yakobo n'abooluganda.” N'afuluma, n'agenda mu kifo ekirala.
18Bwe bwakya enkya, ne wabaawo okwegugunga kunene mu baserikale olw'ekyali kituuse ku Petero. 19Erode bwe yamunoonya nga tamulaba, n'alyoka awozesa abakuumi, n'alagira okubatta. Awo n'ava mu Buyudaaya, n'akkirira mu Kayisariya, n'abeera eyo.
Okufa kwa Erode
20Kati nno Erode yali asunguwalidde abantu b'e Tiiro ne Sidoni. Naye bo ne bajja gy'ali nga bakkaanyizza, ne bamatiza Bulasto eyakuumanga ennyumba ya kabaka, ne basaba okutabagana, kubanga ensi yaabwe emmere yagiggyanga mu nsi ya kabaka. 21Ku lunaku olulagaanye, Erode n'atuula ku nnamulondo ng'ayambadde eby'obwakabaka, n'ayogera gye bali. 22Ekibiina ne kireekaanira waggulu nti: “Eddoboozi lino lya lubaale, si lya muntu buntu.” 23Amangu ago malayika w'Omukama n'amukuba olw'okubanga yali tawadde Katonda kitiibwa; n'aliibwa envunyu, n'afa.
Barunaba ne Sawulo badda e Antiyokiya
24Kyo ekigambo ky'Omukama ne kitinta, ne kyeyongera. 25Barunaba ne Sawulo bwe baamaliriza omulimu gwabwe, ne badda okuva e Yeruzaalemu nga batutte Yowanna eyayitibwanga Mariko.
III. EKLEZIYA MU B'AMAWANGA
A. OLUGENDO LWA PAWULO OLUSOOKA MU MAWANGA
Pawulo ne Barunaba batumibwa mu mawanga

Currently Selected:

Ebik 12: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in