Zekkaliya 8
8
1Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera 2nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi: nkikwatirwa obuggya n'ekiruyi ekingi. 3#Is 1:26; 2:3Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nkiddiddemu Sayuuni, naabeeranga wakati mu Yerusaalemi: era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu. 4Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abakadde, abasajja n'abakazi, balituula ate mu nguudo za Yerusaalemi, buli muntu ng'akutte omuggo mu mukono gwe kubanga akaddiye nnyo. 5N'enguudo ez'ekibuga zirijjula abalenzi n'abawala nga bazannyira mu nguudo zaakyo. 6#Lub 18:14, Zab 118:23Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe kiriba ekitalo mu maaso g'ekitundu ky'abantu abo ekirisigalawo mu nnaku ziri, kyandibadde kya kitalo ne mu maaso gange? bw'ayogera Mukama w'eggye. 7#Zab 107:3, Is 48:5Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndirokola abantu bange okuva mu nsi ey'ebuvanjuba n'okuva mu nsi ey'ebugwanjuba: 8#Yer 4:2; 31:33ndibaggyayo, nabo banaabeeranga wakati mu Yerusaalemi; nabo banaabanga bantu bange, nange naabeeranga Katonda waabwe mu mazima ne mu butuukirivu. 9#Ezer 5:1,2, Kag 2:18Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku lwe baalasa ennyumba ya Mukama w'eggye, ye yeekaalu, ezimbibwe. 10Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne. 11Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye. 12#Kos 2:21,22, Kag 1:10; 2:19Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna. 13#Lub 12:2,3, Is 43:28; 65:15Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi. 14#Ma 9:7,8,22, Yer 31:28; 32:42Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe bansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa; 15Bwe ntyo ate ndowoozezza mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n'ennyumba ya Yuda; temutya. 16#Zab 15:2, Bef 4:25Ebigambo bye munaakolanga bye bino; mubuuliraganenga eby'amazima buli muntu ne munne; musalenga emisango egy'ensonga n'emisango egy'emirembe mu miryango gyammwe: 17so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.
18Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera 19#2 Bassek 25:1, Yer 39:2nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Okusiiba okw'omu mwezi ogw'okuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda okusanyuka n'okujaguza n'embaga ennungi; kale mwagalenga amazima n'emirembe. 20Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo amawanga ne gajja n'abo ababeera mu bibuga ebingi; 21#Zek 2:11; 7:2era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda. 22Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama. 23#1 Kol 14:25, Kub 5:9, Lub 37:24Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga, balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.
Currently Selected:
Zekkaliya 8: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.