YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 5

5
1 # Yer 36:2,28 Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka. 2#Ez 2:9,10N'aŋŋamba nti Olabye ki ggwe? Ne nziramu nti Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka; obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi. 3#Kuv 20:7,15, Ma 29:17N'aŋŋamba nti Ekyo kye kikolimo ekifuluma okubunya ensi yonna: kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aligobwamu ku luuyi lwayo olumu; era ng'ekyo bwe kiri, buli alayira aligobwamu ku luuyi lwayo olulala. 4#Nge 3:33Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira erinnya lyange obulimba; era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.
5Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti Kale yimusa amaaso go, olabe kino ekifuluma bwe kiri. 6#Ez 45:11Ne njogera nti Ekyo kiki? N'ayogera nti Ekyo ye efa efuluma. Era n'ayogera nti Amaaso gaabwe bwe gali bwe gatyo ku nsi yonna; 7(era, laba, ettalanta ey'essasi yasitulibwa;) n'oyo ye mukazi ng'atuula mu nda wa efa. 8N'ayogera nti Ono bwe Bubi; n'amusuula wansi munda mu efa: n'ateeka omusinga gw'essasi ku kamwa kaayo. 9Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula efa mu bbanga ly'ensi n'eggulu. 10Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Abo efa bagitwala wa? 11N'aŋŋamba nti Okumuzimbira ennyumba mu nsi ya Sinaali; nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye.

Currently Selected:

Zekkaliya 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zekkaliya 5