YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 4

4
1 # Kuv 19:16,24, Dan 2:29, Kub 1:10,19 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, n'eddoboozi lye nnasooka okuwulira, ng'ery'akagombe, nga lyogera nange, ng'ayogera nti Linnya okutuuka wano, nange nnaakulaga ebigwanira okubeerawo oluvannyuma lw'ebyo. 2#Ez 1:26; 10:1, Is 6:1, Zab 47:8Amangu ago nnali mu Mwoyo: era, laba, entebe ey'obwakabaka yali ng'eteekeddwawo mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe; 3#Ez 1:26-28naye eyali atudde yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadio okulabika: era nga waliwo ne musoke okwetooloola entebe eyali afaanana nga zumaliidi okulabika. 4#Is 24:23, Kub 3:4; 5:10Entebe ey'obwakabaka yali yeetooloddwa entebe ez'obwakabaka amakumi abiri mu nnya: ne ku ntebe kwaliko abakadde amakumi abiri mu bana nga batudde, nga bambadde engoye enjeru; ne ku mitwe gyabwe engule eza zaabu. 5#Kuv 19:16, Ez 1:13, Kub 8:5; 11:19; 16:18, Zek 4:2Ne ku ntebe nga kuvaako okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. N'ettabaaza omusanvu ez'omuliro nga zaaka mu maaso g'entebe, gy'emyoyo omusanvu egya Katonda; 6#Ez 1:22,26; 10:1, Is 6:1ne mu maaso g'entebe ng'ennyanja ey'endabirwamu efaanana nga kulusitalo; ne wakati w'entebe n'okwetooloola entebe ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'ennyuma. 7#Ez 1:10; 10:14N'ekiramu eky'olubereberye kyali kifaanana ng'empologoma, n'ekiramu eky'okubiri, ng'ennyana, n'ekiramu eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'ekiramu eky'okuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka. 8#Is 6:2,3; 41:4, Ez 1:18; 10:12, Am 4:13, Kuv 3:14N'ebiramu ebina, nga birina buli kimu ebiwaawaatiro mukaaga, bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda: so tebiriiko kuwummula emisana n'ekiro nga byogera nti Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo. 9#Is 6:1, Zab 47:8, Dan 4:34; 6:26; 12:7Era ebiramu bwe birimuwa ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe, 10#Kub 5:14abakadde amakumi abiri mu bana balivuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era balisinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era balisuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti 11Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.

Currently Selected:

Okubikkulirwa 4: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in