YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 2

2
1 # Kub 1:13,16,20 Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti
Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, 2#1 Yok 4:1nti Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba; 3era olina okugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, so tewakoowa. 4Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye. 5Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya. 6#Zab 139:21Naye kino ky'olina kubanga okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa. 7#Kub 22:2, Ez 31:8, Lub 2:9; 3:22,24, Luk 23:43, 2 Kol 12:4Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.
8Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Sumuna wandiika nti
Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu#Is 44:6; 48:12 9#Kub 3:9, Yak 2:5, 2 Kol 11:14,15nti Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani. 10#Dan 1:12,14, Mat 10:28, Kub 3:11, 2 Tim 4:8Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu. 11#Kub 20:14Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.
12 # Is 49:2, Beb 4:12, Kub 1:16; 19:15 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti
Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, 13#Kub 13:2; 3:8nti Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula. 14#Kubal 31:16; 25:1,2, Yud 11Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda. 15Era naawe bw'otyo olina abakwata okuyigiriza kwa Banikolayiti. 16Kale weenenye; naye bw'otalyenenya, njija gy'oli mangu, era ndirwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange. 17#Zab 78:24, Kub 3:12, Is 62:2; 65:15Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja ejjeru, era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya, omuntu yenna ly'atamanyi wabula aweebwa.
18 # Dan 10:6 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti
Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, 19nti Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye. 20#1 Bassek 16:31, 2 Bassek 9:22, Kubal 25:1,2Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi. 21Era nnamuwa ebbanga okwenenya; n'atayagala kwenenya mu bwenzi bwe. 22Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye. 23#Zab 7:9; 62:12, Yer 11:20; 17:10Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima: era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri. 24Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera; sibateekako mmwe mugugu mulala. 25#Kub 3:11Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja. 26#Zab 2:8Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga: 27#Kub 12:5era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange: 28era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya. 29Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.

Currently Selected:

Okubikkulirwa 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in