YouVersion Logo
Search Icon

Engero 6

6
1 # Yob 17:3 Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo,
N'okubira omugenyi mu ngalo,
2Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza,
Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze.
3 # Luk 11:8 Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole,
Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo;
Genda weetoowaze otayirire muliraanwa wo.
4 # Zab 132:4 Toganyanga maaso go kwebaka,
Newakubadde ebikowe byo okubongoota.
5 # Zab 91:3 Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi,
Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi.
6 # Nge 30:25 Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu;
Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi:
7 # Nge 30:27 Eyo terina mwami,
Newakubadde omulabirizi newakubadde afuga,
8 # Nge 10:5 Naye ne yeeterekera ebyayo ebyokulya mu biro eby'okukunguliramu,
N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka.
9Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu?
Oligolokoka ddi mu tulo two?
10Wakyaliwo okwebaka okutono n'okubongoota okutono,
N'okufunya emikono okutono okwebaka:
11 # Nge 24:33,34, Mub 4:5 Bwe kityo obwavu bwo bulijja ng'omunyazi,
N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.
12Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja ow'obutali butuukirivu;
Atambula ng'alina akamwa akabambaavu;
13 # Zab 35:19 Atemya amaaso, ayogeza bigere bye,
Abagula n'engalo ze;
14Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata;
Asiga okukyawagana.
15 # Nge 29:1, Yer 19:11 Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde;
Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa.
16Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa;
Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali:
17 # Zab 101:5, Nge 12:22, Is 59:3,7 Amaaso ag'amalala, olulimi olulimba,
N'engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango;
18 # Lub 6:5, Nge 1:16 Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi,
Ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima;
19 # Nge 12:17; 14:5; 16:28 Omujulirwa w'obulimba ayogera eby'obulimba,
N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda.
20Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo,
So tolekanga tteeka lya nnyoko:
21 # Nge 3:3 Bisibenga ennaku zonna ku mutima gwo,
Binywezenga mu bulago bwo.
22 # Nge 3:23,24 Bw'onootambulanga, linaakukulemberanga;
Bw'oneebakanga, linaakukuumanga:
Era bw'onoozuukukanga, linaayogeranga naawe.
23 # Zab 119:105 Kubanga etteeka ttabaaza; ekiragiro musana;
N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu:
24Okukuumanga eri omukazi omubi,
Eri okunyumiriza kw'olulimi lw'omugenyi.
25 # 2 Bassek 9:30, Mat 5:28 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo;
So n'ebikowe bye biremenga okukukwasa.
26 # 1 Sam 2:36, Nge 29:3, Ez 13:18 Kubanga olw'omukazi omwenzi omuntu afuuka mmere bumere:
N'omukazi omwenzi ayigga obulamu obw'omuwendo omungi.
27 # Yob 31:12 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
Ebyambalo bye ne bitaggya?
28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
Ebigere bye ne bitasiriira?
29Bw'atyo bw'abeera ayingira eri omukazi wa munne;
Buli amukomako talirema kubonerezebwa.
30Abantu tebanyooma mubbi oba ng'abba
Okukkusa emmeeme ye ng'alumiddwa enjala:
31 # Kuv 22:1,4 Naye bw'anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu;
Anaawangayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye.
32 # Nge 7:7; 9:4; 10:13 Ayenda ku mukazi talina kutegeera:
Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo.
33Alifuna ebiwundu n'okunyoomebwa;
N'ekivume kye tekirisangulibwa.
34 # Nge 27:4, Lu 8:6 Kubanga obuggya kye kiruyi ky'omusajja;
So talisaasira ku lunaku olw'okuwalanirako eggwanga.
35Talissaayo mwoyo eri ekinunulo kyonna;
So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi.

Currently Selected:

Engero 6: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in