Engero 4
4
1Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe,
Mutegenga amatu okumanya okutegeera:
2Kubanga mbawa okuyiga okulungi;
Temuvanga mu tteeka lyange.
3Kubanga nali mwana eri kitange,
Omugonvu era eyayagalibwanga nzekka mu maaso ga mmange.
4 #
Leev 18:5, Is 55:3 Era yanjigirizanga n'aŋŋamba nti
Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange;
Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu:
5 #
Nge 2:2
Funa amagezi, funa okutegeera;
Togeerabiranga so tovanga mu bigambo eby'omu kamwa kange:
6 #
2 Bas 2:10
Togalekanga, nago ganaakukuumanga;
Ogaagalanga nago ganaakulindanga.
7Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi:
Weewaawo, funa okutegeera n'ebyo byonna bye wafunanga.
8Gagulumizenga nago galikukuza:
Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga.
9 #
Nge 1:9
Galiwa omutwe gwo engule ey'obuyonjo:
Galikugabira enkuufiira ey'obulungi.
10Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange;
N'emyaka egy'obulamu bwo giriba mingi.
11Naakuyigiriza ekkubo ery'amagezi;
Naakuluŋŋamya mu makubo ag'obugolokofu.
12 #
Zab 18:36, Nge 3:23 Bw'onootambulanga ebigere byo tebiifundikirwenga;
Era bw'onoddukanga teweesittalenga.
13Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga:
Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
14 #
Zab 1:1
Toyingiranga mu kkubo ery'ababi,
So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi.
15Olwesambanga, toluyitangako;
Okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso.
16 #
Zab 36:4
Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi;
N'otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza.
17Kubanga balya emmere ey'obubi,
Ne banywa omwenge ogw'okugira ekyejo.
18 #
Yob 11:17; 22:28, Is 62:1, Dan 12:3 Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana,
Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.
19 #
1 Sam 2:9, Is 59:9,10, Yer 23:12, Yok 11:10, 1 Yok 2:10 Ekkubo ery'ababi liriŋŋanga ekizikiza:
Tebamanyi ekibeesittaza.
20Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange;
Teganga okutu eri okwogera kwange.
21Tebivanga ku maaso go;
Bikuumirenga wakati mu mutima gwo.
22 #
Ma 32:47, Nge 8:35 Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba,
Era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna.
23 #
Mak 12:34,35 Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo;
Kubanga omwo mwe muva ensulo ez'obulamu.
24Weggyengako akamwa akabambaavu,
N'emimwa emikyamu ogyewalanga nnyo.
25 #
Beb 12:2
Amaaso go galuŋŋamirenga ddala,
N'ebikowe byo bitunuulirenga ddala emberi yo.
26 #
Nge 5:6,21, Beb 12:13 Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo,
Era amagenda go gonna ganywerenga.
27 #
Ma 5:32
Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono:
Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi.
Currently Selected:
Engero 4: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.