YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 2

2
1 # Luk 2:1-7 Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, 2#Kubal 24:17nga bagamba nti Ali ludda wa oyo eyazaalibwa Kabaka w'Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ebuvanjuba, ne tujja okumusinza. 3Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna. 4N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza nti Kristo alizaalibwa wa? 5#Mi 5:2, Yok 7:42Nabo ne bamugamba nti Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya: kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti 6Naawe Besirekemu, ensi ya Yuda,
Toli mutono mu balangira ba Yuda:
Kubanga afuga aliva mu ggwe,
Alirunda abantu bange Isiraeri.
7Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okulabika. 8N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti Mugende, munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke njije mmusinze. 9Bwe baawulira kabaka, ne bagenda; laba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, n'ejja n'eyimirira waggulu omwana w'ali. 10Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essanyu lingi nnyo. 11#Zab 72:10,15, Is 60:6Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu. 12Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode, ne baddayo ewaabwe mu kkubo eddala.
13 # Kuv 2:15 Laba, bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, ng'amugamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba, kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta. 14Naye n'azuukuka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'agenda e Misiri; 15#Kos 11:1n'abeera eyo, okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti Nnayita omwana wange okuva mu Misiri. 16Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali. 17#Mat 12:34; 22:33, Lub 3:15Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti
18 # Lub 35:19 Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi,
Laakeeri ng'akaabira abaana be;
So teyayagala kukubagizibwa, kubanga tewakyali.
19Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20#Kuv 4:19ng'agamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri: kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde. 21N'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'ajja mu nsi ya Isiraeri. 22Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Naye Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'ayita ku luuyi lw'e Ggaliraaya. 23#Luk 1:26; 2:39, Is 11:1; 53:2, Yok 1:46N'ajja n'abeera mu kyalo erinnya lyakyo Nazaaleesi: ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire, nti Aliyitibwa Munazaalaayo.

Currently Selected:

Matayo 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in