YouVersion Logo
Search Icon

Malaki 2

2
1 # Mal 1:6 Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. 2#Leev 26:14, Ma 28:15, Mal 3:9Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe: weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo. 3#Kuv 29:14, Yo 1:17, Nak 3:6Laba, ndinenya ensigo ku lwammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe, obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo. 4#Kubal 3:45; 25:12,13, Nek 13:29Awo mulimanya nga nze nnaweereza ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebeere ne Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye. 5#Is 54:10Endagaano yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange. 6#Dan 12:3, Yak 5:20Etteeka ery'amazima lyabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gye: yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu. 7#Leev 10:11, Ma 17:9, Kag 1:13Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era bandinoonyezza amateeka mu kamwa ke: kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye. 8#1 Sam 2:17, Ez 22:26Naye mmwe mukyuse mukyamye mu kkubo; musittazizza bangi mu mateeka; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye. 9#Ma 1:17; 16:19, 1 Sam 2:30Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, nga bwe mutakwata makubo gange naye ne mussaayo omwoyo eri amaaso g'abantu mu mateeka.
10 # Ma 4:35,39, Is 33:1, 1 Kol 8:6, Bef 4:6 Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? tukuusizakuusiza ki buli muntu muganda we, nga twonoona endagaano ya bajjajjaffe? 11#Ezer 9:2Yuda akuusizzakuusizza, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi: kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga. 12Akola bw'atyo Mukama alimuzikiririza oyo azuukuka n'oyo ayitaba, okuva mu weema za Yakobo, n'oyo awaayo ekiweebwayo eri Mukama w'eggye. 13Era na kino nakyo mukikola: mubikka ekyoto kya Mukama amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, n'okussaayo n'atassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo so takikkiriza mu mukono gwammwe ng'asiimye. 14Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano. 15#Lub 2:24Era teyakola omu? newakubadde ng'alina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe. 16#Mak 10:9,11Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.
17 # Is 5:20; 43:24, Mal 3:1,15, 2 Peet 3:4 Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti Twamukooya tutya? Kubanga mwogera nti Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda nnannyini musango ali ludda wa?

Currently Selected:

Malaki 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Malaki 2