YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 20

20
1 # Mat 21:23-27, Mak 11:27-33 Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, yali ng'ayigiriza abantu mu yeekaalu, ng'abuulira enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bamujjira; 2ne boogera nga bamugamba nti Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo? 3N'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mumbuulire: 4okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu? 5Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza? 6Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi. 7Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava. 8Yesu n'abagamba nti Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava.
9 # Is 5:1 # Mat 21:33-46, Mak 12:1-12 N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo. 10#2 Byom 36:15,16Awo mu biro by'omwaka abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamusindika nga talina kintu. 11N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu. 12N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba. 13Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'agamba nti Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa. 14Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe. 15Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu ne bamutta. Kale alibakola atya mukama w'olusuku lw'emizabbibu? 16Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala. Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti Bireme okubaawo. 17#Zab 118:22Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti
Ejjinja abazimbi lye baagaana,
Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda?
18 # Is 8:14 Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; naye oyo gwe lirigwako, lirimufuumuula ng'enfuufu.
19 # Luk 19:48 Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumussaako emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero olwo. 20#Luk 11:54#Mat 22:15-22, Mak 12:13-17Ne bamulabirira, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri okufuga okw'owessaza n'eri obuyinza bwe. 21Ne bamubuuza, nga bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda: 22Kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo? 23Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti Mundage eddinaali. 24Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani? Bo ne bagamba nti Bya Kayisaali. 25N'abagamba nti Kale ebya Kayisaali mumusasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumusasulenga Katonda. 26Ne batayinza kuggya nsonga mu kigambo ekyo mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
27 # Mat 22:23-33,46, Mak 12:18-27,34 Abasaddukaayo abamu ne bajja gy'ali, abagamba nti tewali kuzuukira; ne bamubuuza, 28#Lub 38:8, Ma 25:5,6nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde. 29Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana; 30n'ow'okubiri; 31n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bali omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana. 32Oluvannyuma n'omukazi n'afa. 33Kale mu kuzuukira aliba muk'ani ku abo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa. 34Yesu n'abagamba nti Abaana b'ensi eno bawasa, bafumbizibwa: 35naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbizibwa: 36#1 Yok 3:1,2kubanga n'okufa tebayinza kufa nate: kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira. 37#Kuv 3:2,6Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38#Bar 14:8Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe. 39Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti Omuyigiriza, oyogedde bulungi. 40Kubanga tebaayaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate. 41#Mat 22:41-45, Mak 12:35-37N'abagamba nti Boogera batya nga Kristo ye mwana wa Dawudi? 42#Zab 110:1, Yok 7:42Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti
Mukama yagamba Mukama wange nti
Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
43Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebbe y'ebigere byo.
44Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya? 45Awo abantu bonna bwe baali nga bamuwulira, n'agamba abayigirizwa be nti 46#Luk 11:43Mwekuumenga abawandiisi, abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; 47abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.

Currently Selected:

Lukka 20: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in