Lukka 17
17
1N'agamba abayigirizwa be nti Tekiyinzika ebisittaza obutajja; naye zimusanze oyo abireeta! 2#Mat 18:6,7Waakiri oyo okusibwa olubengo mu bulago bwe, okusuulibwa mu nnyanja, okusinga okusittaza omu ku abo abato. 3#Mat 18:15Mwekuumenga muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga. 4#Mat 18:21,22Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.
5 #
Mak 9:24
Abatume ne bagamba Mukama waffe nti Otwongereko okukkiriza. 6#Mat 17:20; 21:21Mukama waffe n'agamba nti Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde. 7Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu ago otuule olye; 8naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe? 9Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa? 10Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.
11 #
Luk 9:51; 13:22 Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya. 12#Leev 13:45,46Awo bwe yayingira mu mbuga emu ne bamusisinkana abantu kkumi abagenge, abaayimirira ewala; 13ne boogerera waggulu ne bagamba nti Yesu, Mukama waffe, otusaasire. 14#Luk 5:14, Leev 13:49; 14:2,3Bwe yabalaba n'abagamba nti Mugende mwerage eri bakabona. Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. 15Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; 16n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya. 17Yesu n'addamu n'agamba nti Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? naye bali omwenda bali ludda wa? 18Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono? 19#Luk 7:50N'amugamba nti Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.
20 #
Yok 18:36; 3:3 Bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bujja ddi? n'abaddamu n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese: 21#Mat 24:23, Yok 1:26; 12:35so tebaligamba nti Laba, buli wano! oba nti Buli wali! kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli munda yammwe.
22N'agamba abayigirizwa be nti Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba. 23#Luk 21:8Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temugobereranga; 24#Mat 24:26,27kubanga okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, nga bwe kumasamasiza ne ku luuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe. 25#Luk 9:22Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ebingi n'okugaanibwa ab'emirembe gino. 26#Mat 24:37-39Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z'Omwana w'omuntu. 27#Lub 7:7-23Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna. 28#Lub 18:20Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba, 29#Lub 19:24,25naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna: 30bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa. 31#Mat 24:17,18, Lub 19:26Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga nnyuma. 32Mujjukire mukazi wa Lutti. 33#Luk 9:24Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya. 34Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 35#Mat 24:40,41Abakazi babiri baliba nga baseera wamu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 36[Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.] 37#Yob 39:30, Mat 24:28Ne baddamu ne bamugamba nti Wa, Mukama waffe? N'abagamba nti Awaba omulambo eyo n'ensega we zirikuŋŋaanira.
Currently Selected:
Lukka 17: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.