Lukka 14
14
1 #
Luk 6:6-11; 11:37 Awo olwatuuka bwe yayingira ku ssabbiiti mu nnyumba y'omukulu w'Abafalisaayo omu okulya emmere ne bamulabirira. 2Era, laba, waaliwo omuntu mu maaso ge, eyali alwadde entumbi. 3Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo? 4Naye ne basirika. N'amukwatako n'amuwonya, n'amusiibula. 5#Luk 13:15, Mat 12:11N'abagamba nti Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye ng'egudde mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku ssabbiiti? 6Ne batayinza ate kumuddamu ebyo.
7 #
Mat 23:6
N'agerera olugero abo abaayitibwa bwe yalaba engeri gye beeroboza ebifo eby'oku mwanjo; n'abagamba nti 8#Nge 25:6Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo kya ku manjo, mpozzi waleme okubaawo akusinga ekitiibwa gw'ayise, 9n'oli eyakuyise ggwe naye n'ajja, n'akugamba nti Segulira ono; n'olyoka otanula n'ensonyi okutwala ekifo eky'ennyuma. 10Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'ennyuma, eyakuyise bw'anajjanga, akugambe nti Mukwano gwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere. 11#Luk 18:14, Mat 23:12Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.
12Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; mpozzi baleme okukuyita nate nabo, ne wabaawo okukusasula. 13Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso: 14#Yok 5:29era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: kubanga olisasulirwa mu kuzuukira kw'abatuukirivu.
15 #
Luk 13:29
Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda. 16#Mat 22:2-10Naye n'amugamba nti Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene; n'ayita bangi: 17n'atuma omuddu we obudde obw'embaga nga butuuse okugamba bali abayitiddwa, nti Mujje; kubanga bimaze okutegekebwa. 18Bonna n'emmeeme emu ne batanula okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa. 19N'omulala n'agamba nti Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzikema; nkwegayiridde nsonyiwa. 20#1 Kol 7:33N'omulala n'agamba nti Mpasizza omukazi, kyennaava nnema okuyinza okujja. 21Awo omuddu oyo n'ajja n'abuulira mukama we ebyo. Awo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera. 22Omuddu n'agamba nti Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebbanga. 23Mukama we n'agamba omuddu nti Fuluma ogende mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule. 24Kubanga mbagamba nti Bali abaayitibwa, tewali n'omu alirega ku mbaga yange.
25Awo ebibiina binene byali bigenda naye; n'akyuka n'abagamba nti 26#Ma 33:9,10, Luk 18:29,30, Yok 12:25Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. 27#Luk 9:23#Mat 10:37,38Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'ajja ennyuma wange, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. 28Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala? 29Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi bw'atayinza kugimaliriza, bonna abalaba batanula okumusekerera, 30nga bagamba nti Omuntu ono yasooka okuzimba n'atayinza kumala. 31Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasooka kutuula n'ateesa ebigambo, oba ng'ayinza n'akakumi okusisinkana n'oli amujjira n'obukumi obubiri? 32Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana. 33Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange. 34#Mat 5:13, Mak 9:50Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki? 35Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
Currently Selected:
Lukka 14: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.