YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 17

17
1 # Yok 11:41; 13:1 Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize: 2#Mat 11:27nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo. 3#1 Yok 5:20, 1 Bas 1:9Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo. 4#Yok 4:34Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza. 5#Yok 1:1; 17:24, Baf 2:6Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo. 6#Yok 17:9, Mat 6:9Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo. 7Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe: 8#Yok 16:30kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 9#Yok 6:37,44Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo; 10#Yok 16:15, Luk 15:31era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo. 11Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe. 12#Yok 6:39, Zab 41:9; 109:8, 2 Bas 2:3Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire. 13#Yok 15:11Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 14#Yok 15:18, Mat 6:13, Luk 22:32Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. 15Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. 16Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. 17#Yok 6:63Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima, 18#Yok 20:21Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi. 19#Beb 10:10Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima. 20#Yok 17:9So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe; 21#Bag 3:28bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma. 22#Bik 4:32Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; 23#1 Kol 10:29; 12:26, Bef 1:4nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze. 24Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa. 25Kitange Omutuukirivu, ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma; 26era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.

Currently Selected:

Yokaana 17: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in