Isaaya 58
58
1 #
Mi 3:8
Yogerera waggulu, tota, yimusa eddoboozi lyo ng'ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n'ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe. 2#Is 29:13Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange: ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu, ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu, basanyuka okusemberera Katonda. 3#Nek 5:1-12, Is 56:2Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba? lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaako mwoyo? Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe, n'emirimu gyammwe gyonna nga mukoze n'amaanyi. 4Laba, musiibira ennyombo n'okuwakana, n'okukuba ekikonde eky'ettima: temusiiba leero bwe mutyo n'okuwuliza ne muwuliza eddoboozi lyammwe mu ggulu. 5#Zek 7:5Okusiiba kwe nnalonda bwe kufaanana bwe kutyo? Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe? Kwe kukutamya omutwe ng'olulago, n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we? ekyo ky'onooyita okusiiba, era olunaku Mukama lw'asiima? 6Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo? 7#Ez 18:7Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekisa mubiri gwo ggwe? 8#Yob 11:17, Is 52:12, Yer 30:17Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya, n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja: n'obutuukirivu bwo bulikukulembera; ekitiibwa kya Mukama kye kirikusemba. 9#Nge 6:13N'olyoka oyita Mukama n'ayitaba; olikaaba naye alyogera nti Nze nzuuno. Bw'onoggya wakati wo ekikoligo, okulaga olunwe, n'okwogera obubi; 10n'omuggirawo omuyala obulamu bwo, n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa; kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza, n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu: 11#Yer 31:12era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi. 12#Ezer 6:14, Is 61:4N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika: olizza emisingi egy'emirembe emingi: era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu. 13#Nek 13:15-21, Is 56:2Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe: 14#Ma 32:13, Yer 50:19kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Currently Selected:
Isaaya 58: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.