YouVersion Logo
Search Icon

2 Abakkolinso 3

3
1 # 2 Kol 5:12, Bar 16:1, Bik 18:27 Tutanula nate okwetendereza fekka? oba twetaaga ebbaluwa ng'abalala, ez'okutendereza eri mmwe, oba eziva gye muli? 2#1 Kol 9:2Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, abantu bonna gye bategeera, gye basoma; 3#Kuv 24:12; 31:18; 34:1, Nge 3:3; 7:3, Ez 11:19; 36:26, Yer 31:33, Bar 15:16nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande gy'emitima egy'omubiri. 4Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo: 5#2 Kol 2:16si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowooza ekigambo kyonna ng'ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda; 6#Yer 31:31, 1 Kol 11:25, Bar 7:6, Yok 6:63era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab'omwoyo: kubanga ennukuta etta, naye omwoyo guleeta obulamu. 7#Kuv 34:30Naye oba nga okuweereza okw'okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky'amaaso ge; ekyali kigenda okuggwaawo: 8#Bag 3:2,5okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kuba na kitiibwa? 9#Ma 27:26, Bar 1:17; 3:21Kuba oba ng'okuweereza okw'omusango kye kitiibwa, okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza ekitiibwa. 10#Kuv 34:29Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo. 11Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga nnyo okuba n'ekitiibwa.
12Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi, 13#Kuv 34:33,35so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo: 14#Bar 11:25naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo. 15Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe. 16#Bar 11:22,26, Kuv 34:34Naye bwe gukyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo. 17#Yok 7:39; 8:36, Kuv 16:7; 24:17, Bar 8:2Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe. 18#Beb 11:1,3, Bak 1:16Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo.

Currently Selected:

2 Abakkolinso 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in