Matayo 1
1
Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo
1 Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:
2 Ibulayimu yazaala Isaaka,
Isaaka n’azaala Yakobo,
Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.
3 Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,
Pereezi n’azaala Kezirooni,
Kezirooni n’azaala Laamu.
4Laamu yazaala Aminadaabu,
Aminadaabu n’azaala Nasoni,
Nasoni n’azaala Salumooni.
5Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,
Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.
Obedi n’azaala Yese.
6 Yese yazaala Kabaka Dawudi.
Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.
7Sulemaani yazaala Lekobowaamu,
Lekobowaamu n’azaala Abiya,
Abiya n’azaala Asa.
8Asa n’azaala Yekosafaati,
Yekosafaati n’azaala Yolaamu,
Yolaamu n’azaala Uzziya.
9Uzziya n’azaala Yosamu,
Yosamu n’azaala Akazi,
Akazi n’azaala Keezeekiya.
10 Keezeekiya n’azaala Manaase,
Manaase n’azaala Amosi,
Amosi n’azaala Yosiya.
11 Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.
12 Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:
Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,
Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.
13Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,
Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,
Eriyakimu n’azaala Azoli.
14Azoli n’azaala Zadooki,
Zadooki n’azaala Akimu,
Akimu n’azaala Eriwuudi.
15Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,
Eriyazaali n’azaala Mataani,
Mataani n’azaala Yakobo.
16 Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
Okuzaalibwa kwa Yesu
18 Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 19 Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
20Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21 Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
22Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23 “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
24Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25 Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.
Currently Selected:
Matayo 1: EEEE
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.