YouVersion Logo
Search Icon

Lukka Ennyanjula

Ennyanjula
Lukka yali musawo, dakitaali, era yatambula nnyo n’Omutume Pawulo. Enjiri eno yagiwandiikira mukwano gwe Omuyonaani eyali omusajja omuyigirize era omulabufu, erinnya lye Teefiro. Lukka yagenderera okulaga obulamu bwa Yesu bwennyini n’ekifo kye mu byafaayo. Enjiri eno eyolekera ddala Yesu nga ye Muntu atuukiridde, ataliiko kamogo. Noolwekyo Lukka yeegendereza nnyo okwekenneenya buli kawonvu n’akagga, era n’ebiseera ebintu by’ayogerako we byabeererangawo. Atandika n’okunnyonnyola okuzaalibwa kwa Yesu, nga nnyina yali tamanyi musajja, n’attottola ebintu bingi ku nsonga eyo ebitasangibwa walala n’akatono. Annyonnyola bulungi emirimu egy’ekitalo Yesu gye yakolera mu Ggaliraaya, era n’anyumya mu mboozi empanvu eby’olugendo lwa Yesu olwasembayo, bwe yava e Ggaliraaya okulaga mu Yerusaalemi. Yesu bwe yamala okufa n’okuzuukira mu bafu, n’agenda mu ggulu, abayigirizwa be ne basigala nga balindirira okujjuzibwa amaanyi ga Katonda agava mu ggulu, Yesu ge yabasuubiza.

Currently Selected:

Lukka Ennyanjula: EEEE

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in