Yokaana 16
16
1 “Ebyo mbibategeezezza muleme kwesittala. 2Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga n’alowooza nti aweereza Katonda. 3Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi. 4Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe. 5 Kaakano ŋŋenda eri eyantuma. Naye tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’ 6Naye kubanga mbategeezezza ebyo emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7 Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli. 8Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango, 9 kubanga tebanzikkiriza, 10 olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, 11 n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.
12 “Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera. 13 Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo. 14Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga. 15 Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga. 16 Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”
17 Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ” 18Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”
19Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba? 20 Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate. 21 Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi. 22 Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako. 23 Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. 24 Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 25 Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange. 26 Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange. 27 Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda. 28 Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”
29 Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero. 30Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
31Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza? 32 Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 “Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”
Currently Selected:
Yokaana 16: EEEE
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.