Ebikolwa byʼAbatume Ennyanjula
Ennyanjula
Lukka Omutukuvu ye yawandiika ekitabo kino. Kyawandiikibwa ludda awo nga mu ad 63. Mu kitabo kino Lukka ayongereza ku ebyo bye yawandiika mu Njiri, ng’agenderera okulaga nti omulimu Yesu gwe yatandika ku nsi akyayongera okugukolera mu Kkanisa ye. Mu kitabo kino tusangamu ebimu ku bintu ebikulu ebyakolebwa Abaweereza ba Kristo mu Kkanisa ye mu bbanga ery’emyaka 33 kasookedde addayo mu ggulu. Ekitabo kino kitandika n’Abatume okujjuzibwa amaanyi ga Katonda, ne babuulira Enjiri nga tebaliiko kye batya, abantu 3,000 ne bakkiriza ku lunaku lumu (2:41). Ne kizzaako okunnyonnyola obulamu bw’Ekkanisa mu Yerusaalemi nga bwe bwali mu kiseera ekyo; ne kyogera ku kubunyisa Enjiri mu Samaliya, n’ebyo Omutume Peetero bye yakola, ne kikwata ku kuyigganyizibwa kw’abakkiriza okwasooka. Olwo essira Lukka n’alissa ku Mutume Pawulo, n’attottola bulungi eŋŋendo za Pawulo ez’okubunyisa Enjiri mu baamawanga; ekitabo n’akimaliriza n’olugendo lwa Pawulo olwamutuusa e Ruumi.
Currently Selected:
Ebikolwa byʼAbatume Ennyanjula: EEEE
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.