YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 126

126
Oluyimba olw'oku madaala.
Okwebaza olw'okuva mu busibe
1Mukama bwe yaggyawo obusibe bwa Sayuuni,
Ne tufaanana ng'abo abaloota.#Bik 12:9
2Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko,
N'olulimi lwaffe ne luyimba olw'essanyu,
Ne balyoka boogerera mu mawanga
Nti, “ Mukama abakoledde ebikulu.”#Yob 8:21, Zab 71:19
3Mukama atukoledde ebikulu;
Kyetuvudde tusanyuka.
4Okomyewo nate emikisa gyaffe, Ayi Mukama,
Ng'emigga egikulukutira mu bukiikaddyo.
5Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.#Nek 12:43, Yer 31:9
6Newakubadde nga yagenda ng'akaaba,
ng'atwala ensigo;
Alidda nate n'essanyu, ng'aleeta ebinywa bye.

Currently Selected:

Zabbuli 126: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in