Zabbuli 133
133
Oluyimba olw'oku madaala; olwa Dawudi.
Emikisa gy'okubeera obumu
1Laba bwe kiri ekirungi, bwe kisanyusa,
Ab'oluganda okubeera awamu nga batabaganye!#Lub 13:8, 1 Kol 1:10
2Kiri ng'amafuta ag'omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe,
Agaakulukutira mu kirevu,
Mu kirevu kya Alooni;
Agakulukutira ku lukugiro lw'ebyambalo bye;#Kuv 29:7, Leev 8:12
3Kiri ng'omusulo gw'okulusozi Kerumooni,
Ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
Kubanga eyo Mukama gy'agabira omukisa,
n'obulamu obw'emirembe n'emirembe.#Leev 25:21, Ma 28:8, Mat 25:34, Yok 4:14; 17:3, 1 Yok 5:11
Currently Selected:
Zabbuli 133: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.